TOP

Omuwala yatucanga ne mmukoowa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th July 2018

NZE Umar Seguya, mbeera Kawempe -Kirokole, nga nnina emyaka 26. Natandika ensonga z’omukwano nga naakamala S6 mu 2013, naye omuwala gwe nasooka okwagala yantamya eby’omukwano kuba yali atucanga n’omusajja omulala.

Wadde 703x422

Lumu waliwo mukwano gwange Steven eyantwala e Mityana tukole obwapoota era eno gye nasanga Scovia ne mwegwanyiza.

Namukwana n’akkiriza era n’atuuka n’okuηηaamba nga bwe yali talina musajja mulala yenna.

Omuwala ono yalina omusajja omulala gwe yali ayagala era ng’amusasulira ne ssente ezimu ku fi izi kuba yali asoma ku yunivasite emu.

Kyokka nga nange ezange ez’okupoota nazo azinzigyamu. Ekyasinga okunnuma kwe kuba nti omusajja ono, yali ammanyi naye nga nze simumanyi kuba omuwala ono ne bweyajjanga ewange ng’omusajja ono amukubira essimu ng’amuwaanira mu maaso gange. Kyokka ng’annimba nga bwatamwagala wabula amwagalako ssente zokka.

Lumu tuba tuli awo, omusajja n’ankubira essimu nga simanyi gye yagiggya n’atandika okunvuma era nti mmala budde oli mukazi we era mwesonyiwe bwemba nkyayagala obulamu.

Kino kyantiisa nga simanyi na musajja ono gye yali aggye ssimu yange era wano omuwala ono we namwesonyiyira kuba nnali nkyayagala obulamu bwange era eby’abakazi ne mbyesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muserikale 220x290

Omuserikale wa poliisi gwe baakutte...

EDDOBOOZI lya Gideon Mbirire eryesembyeyo okuwulirwa lyabadde nti ‘temunzita eby’emmundu sibimanyi’. Kyokka bakira...

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63