TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwana ayagala kunzita ng’ambuuza kitaawe gye yalaga

Omwana ayagala kunzita ng’ambuuza kitaawe gye yalaga

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2018

OMUSAJJA eyansuubiza okunjagala okutuusa lwe ndifa yeekyusa omulundi gumu nga yaakamala okunfunyisa olubuto.

Olo 703x422

Olwategeera nti ndi lubuto kwe kunzirukako nga kati omwana awezezza emyaka 24 ng’ammanja kitaawe simanyi wa kumusanga Nze Inid Kabaganyizi 40, nga nsuubula matooke era nga mbeera mu Katanga e Wandegeya.

Mu 1992 nasisinkana omusajja Nathan e Kasese ku kyalo Nyakasanga n’andeddereza n’ansaba twagalane.

Nakkirizza ne tusalawo okufumbiriganwa olwo n’asuubiza eggulu n’ensi.

Oluvannyuma lw’omwaka gumu yanfunyisa olubuto era mu mukwano omungi namusaba okugendako mu bazadde bange Yangulira ebintu by’okutwalira abazadde ne mmalayo ennaku nga ziizo.

Wabula nagenda okuddayo we twali tubeera e Kasese ng’asenguse.

Naguma ne ng’aana okuggyamu olubuto yadde ng’embeera gye nayitamu teyali nnungi.

Oluvannyuma nazaala omwana omulenzi olw’okuba nali simaanyi ba famire ye nasalawo okumwetuumira amannya nga kati awezezza emyaka 24.

Nga tukyali mu mukwano omungi ne Nathan yang’amba nti bamuzaala Mbarara kyokka ekyalo teyakimbuulira.

Omwana ng’awezezza emyaka 10 yatandika okumbuuza kitaawe kyokka naguma ng’omukazi ne mubuulira ekituufu nti kitaawe simanyi gye yalaga era ne mmubuulira bwe byajja.

Nga bw’omaanyi nti buli muntu ayagala okubeera ne famire ye n’okutuusa kati omwana anemeddeko ayagala kumulaga kitaawe era omwezi oguwedde yannumbye mu kisenge kyange ng’atabuse ng’ayagala mulage kitaawe era ssinga tebaali baliraanwa kwanguwa kuntaasa omwana yali ayagala kuntuga.

Ensonga zagenze ku Poliisi y’omu Kimwanyi naye abaserikale ne batusaba tugonjoole ensonga zaffe.

Omwana okuva lwe yamanya nti simanyi kitaawe gy’ali yakyuka ankambuwalira kati simanyi kya kukola. Nsaba abasomi ba Bukedde bampe ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...