TOP

Omusajja yanjooga n'antamya eddya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

NZE Angel Kyomuhangi 23, mbeera Kawempe. Twasisinkana ne baze e Kaluhuuza ekisangibwa e Kibaale. Mu kiseera we twalabaganira nali mbeera ne bazadde bange.

Wena 703x422

Twayagalana era omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya ekyampaliriza okumutwala ewaffe okumwanjulayo basobole okumutegeera.

Oluvannyuma, yantwala mu maka ge nga tuyise mu makubo amatuufu.

Yantwala mu makaage e Nansana mu Kampala ne tutandika okubeera ffembi.

Baze mu kusooka yali yeeyisa bulungi naye bwe twamala okuzaala abaana baffe ababiri, baze yatandika okukyuka nga yeeyisa nga bw’ayagala. Yatandika okumpisaamu amaaso n’okunjooga.

Yali akola safaali nga muvuzi wa ttuleera. Lumu bwe yagenda ku mulimu, yakomawo n’omuwala ggwe nali sirabangako ku ssaawa 4:00 ez’ekiro.

Bwe namubuuza ebikwata ku muwala, n’aηηamba nti muwala wa mukwano ggwe nti naye yali amuleese asobole okusula awaka enkeera yeeyongereyo ewaabwe.

Bwe twatuusa okwebaka, omuwala ono nnamwalira mu ddiiro wabula ttuba tuli eyo mu matumbibudde, nagenda okuwulira nga baze yeemulula okuva mu buliri bwaffe mpolampola ng’aggulawo oluggi okugenda mu ddiiro okusisinkana omuwala.

Baze yalowooza nti nneebase kyokka nga mpulira buli kimu ekyali kigenda mu maaso. Nasitukiramu ne mugoberera mpolampola.

Namuwaamu akaseera katono ne nteekako ettaala y’omu ddiro, nnabasanga bali bukunnya nga beesanyusa.

Kino kyampitirirako ne nkuba omulanga era ekyaddirira kwali kulwana ne baze nga mpulira obusungu olw’okunjooga atyo.

Omulundi ogwaddako, nali ndi lubuto lwa mwana wange owookubbiri nga lukuliridde era nnali nnafuye.

Baze yandeetera omuwala annyambeko ku mirimu, n’aηηamba nti mwana wa ssenga we.

Lumu mbeera ηηenze ku Kkanisa okusaba, kw’olwo baze n’omuwala nabaleka waka. Nagenda okudda awaka n’abakwata lubona nga beegadanga mu buliri bwange.

Ekyokubakolera bombi kyambula kuba saalina maanyi, kwe kusalawo okusibamu ebyange ne mmuviira ne nzira ewaffe.

Okuva olwo nasalawo okumwesonyiwa. Bazadde bange baagezaako okumuyita batutuuze mu nsonga naye n’agaana n’okutuusa kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Omuwala omulala bamuwambye ne bamutta...

OMUWALA omulala azuuliddwa ng’attiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’omwala e Namasuba mu Kikajjo....

Papa 220x290

Maama Fiina agulidde Abasiraamu...

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga...

Stella 220x290

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira:...

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira...

Funayo1 220x290

Abawaabi ba Gav't beegayiridde...

ABAWAABI wa gavumenti mu musango gwa Kitatta beegayiridde kkooti y’amagye e Makindye esingise Kitatta ne banne...

Goba 220x290

Emisota gigobye Pulezidenti wa...

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde...