TOP

Ebireetera basajja okwekuba emikolo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

“OLUNAKU lwe nategeka okukyaza omusajja wange n’atalabikako sirirwerabira. Omusajja ono nnali mmaze naye ebbanga nga tubeera wamu era nze namuyingizaamu ekirowooza ky’okukyalako ewaffe bamumanye mu butongole.

Panga 703x422

Munnange yakkiriza wabula waba wabulayo olunaku lumu omukolo gutuuke ate n’ankubira essimu ng’agamba nti afunyeemu obuzibuzibu, tajja kusobola kujja. Kino saakitwala nga kikulu nga ndowooza nti osanga anzannyisa.

Nakubira ku bantu be yali alina okujja nabo era be bankakasa nti yabagambye nti emikolo tegikyaliyo.

Nawulira nga nswadde naddala mu bantu be nnali mpise okubaawo ku mukolo era ne nsalawo okusooka okuva ku kyalo okumala wiiki nnamba,” bwatyo Sumayiyyah Namatovu ow’e Salaama bw’anyumya ku mbeera gye yayitamu bwe yategeka okukyaza omwami we wabula n’atalabikako.

Abawala n’abakyala bangi ensangi zino abeesanga mu mbeera ng’eya Namatovu, nga bategeka emikolo omuli okukyala, okwanjula oluusi n’embaga kyokka abasajja ne batalabikako.

Rehema Nakibuuka ow’e Miseebe-Mityana yagambye nti abasajja beekuba emikolo oluvannyuma lw’embeera okubalemerera.

Abamu bagenda ne balimba ku buko nti balina nnyo ssente ate nga tebalina era gye biggweera ng’amazima geeyolese. Olw’ensonyi ennyingi ng’alaba bye yasuubiza bigaanyi asalawo kwepena mukolo.

Nakibuuka ayongerako nti era abaami bano balimba abawala wano nga babakwana ne babasuubiza embaga ate ng’oluusi tannaba kweteekateeka, ate nga tayagala kunyiiza muwala.

Ekivaamu kwe kukkiriza nga bw’agenda okumuwasa naye nga teyeetegese.

Fredrick Kisenyi kansala akiikirira Miseebe ku ggombolola e Bulera mu Mityana era nga mwogezi wa ku mikolo yagambyen nti embeera eno esinga kuva ku bawala okuteeka abasajja be baba bafunye ku ddaala lye bataliiko.

“ Omuwala ayinza okugamba ab’ewaabwe nga bw’afunye omusajja ow’ebbeeyi olwo abazadde ne batandika okwesunga okufuna ebingi. Omusajja bw’abimanya ate nga talina ssente asalawo kubivaamu ng’atya okuswala.” Kisenyi ayongerako nti n’abeηηanda bamanyi okulemesa emikolo.

Ssinga kisangibwa ng’aba famire y’omuwala tebaasiima bulungi musajja kisobola okuleetawo embeera emulemesa okukola omukolo era kino kisobola okukolebwa mu ngeri ez’enjawulo okugeza; basobola okuyita mu kuvumirira omusajja kw’ossa n’okumuyisaamu amaaso era kino omwami bw’akimanya asalawo kwekuba mukolo.

Ayongerako nti n’ebintu ebingi ebisabibwa abazadde nabyo bikanga abasajja.

Kisenyi yagambye nti waliwo abazadde abalowooza nti bajja kugaggawalira mu muwala waabwe oyo era bagukozesa ng’omukisa okusaba buli kintu kyonna kye baagala okuva ew’omusajja abeera asazeewo okuwasa muwala waabwe oyo.

Omusajja ayinza okusooka n’akkiriza okuwaayo ebintu ebyo ebibeera bimusabiddwa olw’okuba nti abeera ayagala nnyo omuwala naye era ne bateesa bulungi nnyo ku lunaku lw’omukolo ne lw’anaabireeta naye ate oluvannyuma omwami bw’alemererwa asalawo kwekuba mukolo natajjira ddala olw’ensonga nti ebintu bibeera bingi ate nga tabirina.

Kisenyi ayongerako nti n’abaana abawala batunuulira nnyo enfuna y’abaami baabwe ne balowooza balina nnyo sente sso nga ate ye omusajja abibala bulala.

Abaana abawala bw’atunulamu n’alaba ng’omusajja we alina nnyo ssente alowooza nti zonna zinaggwera mu kutegeka mukolo ekintu ekitali kituufu kubanga ye ng’omwami abeera alina okukakasa nti wadde ayagala okukola omukolo naye ne bizinensi ye erina okusigala ng’etambula, era kino omwami bw’akizuula oluvannyuma nti omuwala ono ayagala kumufunamu bufunyi asalawo okuva ku kutegeka omukolo ogwo.

Ayongerako nti n’abaana abawala bamanyi okukaka abasajja okujja okukyalako mu bakadde, ebiseera ebisinga abaana abawala bamala ku basajja emirembe nga babateekako bukwakkulizo obutali bumu nga ate abasajja tebalina ssente nga n’olumu bamanyi n’okugamba abaami nti tebabaagala olw’okuba tebakyalangako waabwe era wano n’omwami ky’akola olw’okuba abeera ayagala nnyo omuwala kwe kukkiriza.

Kisenyi era ayongedde n’akuutira abazadde nti bandikkirizza ne tuddayo ku nnono yaffe ey’edda ng’abazadde basaba ebintu bitonotono kasita abaana babeera nga basiimaganye bulungi okusobola obutakalubya mbeera.

Ayongeddeko nti abazadde bangi balemesa abaana baabwe okufumbirwa abasajja bebabeera beesiimidde kubanga bbo babeera balina abo be babaagaliza ekintu ekikyamu.

ENGERI NAMATOVU GYE YAVA MU MBEERA ENO

Namatovu yagambye nti yawulira ng’aswadde nnyo eri abantu be yali ayise okubeerawo ku mukolo gwe era kye yakola kwe kwetegulako ku kyalo okumala ekiseera era yasalawo okugendako ewa mukwano gwe ng’eno yamalirayo ddala wiiki nnamba ng’agezaako okufuna okubudaabudibwa.

Ayongerako nti ekiseera kyatuuka ng’awulira takyalina nsonyi n’asalawo okudda ewaabwe kubanga n’ebigambo byali bikendedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...