TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki abasajja basusse okwegaana embuto?

Lwaki abasajja basusse okwegaana embuto?

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

ABAWALA bangi ennaku zino bayingira obufumbo oba bali mu bufumbo naye nga balina abaana baabwe be baazaala mu buvubuka naye nga si be basajja be baafumbirwa.

Pin 703x422

Wabula ensonga nnyingi ezireese embeera eno ng’abamu, abavubuka be baazaalamu beegaana embuto zino ne beesanga nga bafunyeeyo abalala. Zino ze zimu ku nsonga lwaki abavubuka beegaana embuto.

1 Okutya obuvunaanyizibwa. Abavubuka abamu bakwana abawala nga balina ekigendererwa kyabwe oba nga baagala kwegatta nabo kubamanya naye si kuzaala. Era baba bakimanyi nti tebalina busobozi bulabirira baana be baba bazadde.

Kale omuntu ow’ekika kino, singa afunyisa omuwala oyo olubuto mu butanwa, kiba kyangu okulwegaana wadde ng’aba akimanyi nti lulwe.

2 Abamu bayaaye. Abavubuka abamu ne bwaba n’obusobozi obulabirira olubuto, olwegaana kuba bwe yali akuganza, yakikola mu ngeri ya kiyaaye. Ono ne bw’omugamba nti oli lubuto akwekalizaamu ng’oluusi aba ayagala oluggyemu kubanga ye byakola biba bya kiyaaye.

3 Abawala okugattika abalenzi. Abawala abamu bacanga abasajja oba abalenzi. Bano kubaako gwe yayagala edda, agula “airtime”, ow’ebyokulya n’amutwala owutu, kyokka nga bonna yeegata nabo. Singa omu ku bbo amufunyisa olubuto, kiba kyangu bonna okulwegaana kuba aba teyeesigika.

4 Abazadde. Olumu omulenzi ayinza okwagala omuwala naye bazadde be nga tebamwagala olw’ensonga ezimu, era nga bamumugaana dda wabula omulenzi nasooka ne yeesisiggiriza ekivaamu kumufunyisa lubuto era olw’okutya bazadde be, alwegaana waakiri baawukanire awo.

5 Abamu bazifunyisa be batayagala ku mutima. Olumu ebintu byeyitiriza omuntu gw’oba weetaasizaako ng’enjogera y’ennaku zino, weesanga nga gw’ofunyisizza olubuto. Era ekiva mu kino kuba kulwegaana kuba aba tafaayo oba amulumizza anti aba tamwagala.

6 Abamu baba bafumbo: Abavubuka abamu baba n’abakyala baabwe awaka naye ng’alinayo bumucamula ebbali. Kale oyo ssinga aba afunye olubuto, omulenzi olwokutya engeri gy’anaabitebya ewa mukyala we, aba alina kulwegaana.

Ensonga endala mulimu abamu okuba nga bawulira tebannafuuka bataata, embeera y’ebyenfuna yaabwe wadde ng’obutonde buba bubanja, abamu batya okutandika obufumbo n’ebirala.

Kansala Rebecca Naluyima omukugu mu kubuulirira abavubuka agamba nti omuze gw’okwegaana embuto gususse mu bavubuka era ky’ova olaba nti abakyala oba abawala abali mu bufumbo nga balina abaana be batazaala mu maka ago bangi.

Akuutidde abavubuka okwewala okugwa mu nsobi z’okufuna n’okufunyisa embuto ze bateeteegekedde. Singa baba bafunye bannaabwe, eky’okwegatta basaanye bakikole nga buli omu amaze okwekenneenya ebigendererwa bya munne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana