Wabula kino abakyala bakitwala bubi nti abasajja bano tebabaagala. Era n’emirimu bwe gityo.
Abasajja bangi tebabuulira bakyala baabwe bintu ki bye basuubula. Kubanga oluusi mubaamu okufuntula emmaali.
Kati abasajja kye bava basalawo ddiiru zino zisigale wakati waabwe n’abo ababayamba okuzikutula baleme kuyinzizaamu waakusatu; omukyala. Kubanga bakyala oluusi baagala nnyo okweraga.
Ajja kudda awo mu banne anyumye ssente omwami ze yafunye, ate banne bazimbe omutima.
Abamu banoonye engeri y’okuyimbula fi tina esiikuuke okukkakkana ng’omusajja ali mu kkomera. Oluusi omukazi ono ayinza kino okukikola nga tagenderedde. Naye banne ne balowooza nti abeeragirako.
Ggwe ate olaba abakazi abooluganda bayinza okusindana okulaga ani alina omwana asinga okuzannyisa ebintu eby’ebbeeyi?! Ne baggyiramu ddala empalana.
Kati olwo lwaki omu taazimbe mutima gutuuka na kuwendula babbi ng’ategedde nti omusajja alina kavvu gwe yazze naye n’amukweka mu nju? Naye ate waliwo n’abasajja abalala nga bo enkola yaabwe ya buteerangirira ng’alina ky’akoze.
Ate nga ye omukyala waakwagala butaala. Naye ate era waliwo n’abalala nga ye tabikulaga lwakuba takwagala. Noolwekyo kiri gy’oli ggwe omukazi okwepima mu olabe kiruwa ekikutuukirako ne balo.