TOP

Ebikendeeza amaanyi ga ‘saluti’

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

OMUSAJJA buli lwe yeebaka nga yeegalise saluti ekendeera amaanyi. Kye kiva kyetaaga okwegendereza ennyo sitayiro ey’omukazi nga y’ali waggulu bwe muba mu kaboozi. Era abaali bagezezza ku sitayiro eyo munajjukira nti tetera kulwawo.

Edmenletstalkaboutit 703x422

Eba ya ddakiika waayi, nga ya nkoko. Era emirundi mingi ate sitayiro eno yeeyubula mangu n’efuuka ey’abatudde.

Kubanga omukazi awulira nga tafuna bulungi buwoomi era n’akwata omusajja n’amutuuza, nga ky’anoonya ye saluti okuddamu okufuuka omutayimbwa.

Kubanga saluti y’omusajja efuuka mangu ng’ekipiirapiira(olukoba lw’eggaali) olwo mwembi ne muba nga tewakyali kigendererwa okuggyako okuba ng’obwongo bwammwe bwe bwokka obubeeyimirira nga bubalaga nti muli ku kikolwa naye nga ‘waaka’ tawera.

Kiba kirungi omusajja yeebake nga yeegalise ng’ali mu mbeera gy’amanyi nti tewajja kuba kaboozi.

Okugeza bw’aba ku bugenyi oba nga omukyala we mulwadde n’embeera endala yonna gy’aba alabye nga yeetaaga okukendeeza ku maddu ge ag’akaboozi. Era bwe muba nga mwandyagadde okuddamu akaboozi oluvannyuma lw’okumalamu akagoba, tekyandibadde kirungi musajja kwebaka nga yeegalise.

Wabula nga yeevuunise. Kubanga bwe yeevuunika, olwo ayungirawo n’asaza kimu. Oba kale waakiri yeebake amakiikakiika.

Abasajja muyige kino. Bw’oba mu kitanda waakiri weefunye oba weevuunike naye eby’okwebaka nga weegalise mubiviireko ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?