TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebigambo n’embeera etta muudu mu kisenge

Biibino ebigambo n’embeera etta muudu mu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

TERI kimalamu maanyi mu kiseera ky’akaboozi ng’omukazi okukuηηoola mu bigambo ebiraga nti weefunuggudde naye tolina ky’okoze…” Bwatyo omwami omu bwe yabadde ayogeza obusungu.

Erectiledysfunctiontreatmentsandcauses 703x422

Yabadde anyumiza banne ekyamutuuseeko n’aggwaamu amaanyi olw’ebigambo omukazi bye yayogedde mu kiseera ky’akaboozi kye yayise okumunyooma. Embeera ano etuuka ku bangi ku buli ludda olw’abakyala wamu n’abaami.

Teri muntu atayagala kusiimibwa oli ne bw’aba talina kyamaanyi ky’akoze waakiri osirika n’otonyega naye nga tomuteereddeewo mbeera emulaga nti ‘talina waaka’ ng’enjogera y’ennaku zino.

Hajji Abdu Kisawula omukugu mu kubudaabuda abantu mu nsonga z’omukwano yannyonnyodde nti ebimu ku bigambo ebisaanidde okwewalibwa mu kiseera ky’akaboozi.

Bino bitaputibwa bulala gw’oba oli naye ne kimuleetera okulowooza nti omunyoomye. Eky’okulabirako abakyala abamu batera okukozesa ebibuuzo okugeza;

Otuuyana biki?

Oyinza okukikozesa mu ngeri ya lusaago naye kyandireetera munno okukoma ku lawundi emu n’ataddamu kuyunga ng’anyiize olw’okukitwala nti omunyoomye. Kino bw’okifumiitiriza obeera ng’amubuuza ekimutuuyanyizza nga ggwe tolaba ky’akoze ky’amaanyi.

Mu mbeera eno omukyala bw’olaba nga munno attulukuka akatuuyo olina kufuna kawero n’omuyisaako naye nga towereekerezaako bibuuzo ng’ekimutuuyanya kubanga naawe ky’abaddeko oba okimanyi bulungi.

Obulambulukufu obususse; Kirungi nnyo okubeera abalambulukufu buli omu eri munne wabula mu kiseera ky’akaboozi obulambulukufu busaanye okwegendereza.

Kino kiri nnyo mu baami anti bbo olulaba ekitamusanyusizza akyogererawo nga bwe kiri. Tewali nsonga ekugambisa munno nti owange “oli mukalu nnyo”.

Kino kisobola okuleetera omukyala okwetamwa okwegatta naawe anti ng’alaba tajja kukusanyusa ne bw’anaakola ki.

Mu mbeera eno olina okuyita ewala n’otokikubawo bukubi. Okukomya ebigambo mu kkubo; Kino kiri mu bakyala okusinga n’abeera ng’aliko ky’ayagala okugamba munne wabula n’aba ng’ayogera ogenda okulaba ng’agamba naye kale tubireke.

Kino oyinza okukiraba ng’ekitalina buzibu kyokka kisobola okutta muudu ya munno.

Kino kireeta obude obuvugira mu bwongo bw’oyo gw’oli naye nga yeebuuza nti oba olina ky’obadde oyagala okumwemulugunyaako ne kijjula obwongo bwe n’amaanyi ne gakendeera.

Ekibi ekiri ku kino, munno bw’akulemerako omugambe ky’obadde otegeeza ayinza obutakkiriza ky’omugambye ne bw’oba osazeewo okukimutegeeza, kale osaanye okwewala embeera eyo mu kiseera ky’ekisenge.

Okwekaanya ennyo; Kino abakyala bangi bamanyi obubi bwakyo era tebatera kukikola y’ensonga lwaki omukyala ne bw’aba abadde tayagala tekimugaana kukkiriza omwami we asobole okufuna essanyu.

Abaami kino tebakimanyi era batera okukikola okugeza omwami okudda nga mukoowu asobola okwekaanya mukyala we n’amugamba nti; “maama gundi ndekaamu ndi mukoowu.” Kino kiruma abakyala kubanga oluusi ayinza okuba ng’abadde yakwetegekedde dda kale bw’omulaga okumwekaanya asobola okukitereka naye n’akwesasuza.

Ekyo kisaanye okwewalibwa mu mbeera ya mukwano nga munno omuwooyawooyezza mpola nti; “maama juniya nsaba nsooke mpummulemu katono” . Ekyo kisobola okumuleka nga tanyiize ne bw’oba oyitiddeyo n’otasisimuka.

Okwewuunaganya; Waliwo abantu abalina omuze guno nga tajja kukozesa bigambo naye nga yeewuunaganya ne kiraga nti alina ekimuli ku mutima naye atidde oba agaanyi okukyogera naye nga kimwewuunyisizza.

Kino kiruma kuba tosobola kumanya oba yeewuunya oba akeneka kale kisobola okutta muudu ya munno anti nga tamanyi kituufu kye ki.

Ebibuuzo ku byafaayo bya munno; Ekiseera ky’akaboozi kikyamu okubuulizaamu ebibuuzo ebikwata ku byafaayo by’omukwano mu bulamu bwa munno.

Ebiseera bingi abantu bwe babeera mu kaseera k’okuwummulamu batera okubulwa emboozi entuufu ey’okunyumya mu kaseera kano ekivaako bangi okuleetawo emboozi ezitta muudu. Okugeza abasajja wano we batera okubuuliza abakyala; “waakaagala abasajja bameka?”.

Ekibuuzo nga kino kikyamu kubanga gw’okibuuza ekigenda okusooka okumugenda mu bwongo kwe kuteebereza nti olabika olina ky’omulabyemu ekikukanze. Okwewala kino mwewale okwogera ku byafaayo by’obulamu bwammwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda

Pep1 220x290

Gavt’ esuubizzaaba LCI obugaali...

Gavt’ esuubizzaaba LCI obugaali

Wet2 220x290

Abavubuka basabye Gavt. eyongere...

Abavubuka basabye Gavt. eyongere ku nsimbi z’ebawaGavt

Kop2 220x290

Babayodde lwakusuula bubizzi ku...

Babayodde lwakusuula bubizzi ku Bbanka enkulu

Hop2 220x290

Ababaka bakubaganye empawa ku byapa...

Ababaka bakubaganye empawa ku byapa ebyali mu Teefe Bbanka