TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja gwe twava naye mu bwanvu anneefuulidde

Omusajja gwe twava naye mu bwanvu anneefuulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2018

BANNANGE abasajja bazibu, omusajja gwe twava naye mu bwavu ne tukola emisana n’ekiro kati anneefuulidde n’ansuulawo.

Pa 703x422

Nze Dorah Nambi. Ndi mutuuze ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Baze ye Paul 36, nga muvuzi wa ttipa mu kibuga Mukono era mulinamu abaana bana okuli ow’emyaka omwenda, omukaaga, n’esatu n’ow’emyezi ekkumi.

Omwami wange yatandika okukyuka mpolampola era yatuuka ekiseera nga takyakomawo waka wabula ne ntandika okutya. Wano we nafunira amawulire nti yafunayo omukazi omulala mu bitundu by’e Mukono.

Waayitawo ekiseera ηηenda okuwulira nti azadde abalongo era n’atandika okumbonyabonya era ensonga ne nzitegeezaako balamu bange abaηηumyanga buli kadde.

Ono teyakoma okwo yatandika okutunda ku kibanja kyaffe mpolampola okutuusa ku luggya era ne tusigaza kaabuyonjo na nnyumba.

Ate oluvannyuma yantabukira n’atandika okunneewerera okunzita nti ndeeta abasajja mu nnyumba.

Kyambuukako nga June 20, 2018 ku ssaawa 6:00 oz’ekiro nnali mu nnyumba nga nneebase ne mpulira emmotoka awaka ne nsitukiramu mangu okugenda okulaba ani azze era ku baze kwenakuba amaaso.

Nafuluma ne ηηenda ewa muliraanwa ne neekweka mu bbulooka nga ntya kubanga yali ansuubizza okunzita, era nnali nkyali eyo ηηenda okuwulira ng’amukaza nti mpa mukazi wange omukwese eyo.

Kino kyampaliriza okuvaayo gye nnali nneekwese ne musaba ave ku mukazi wabandi kuba ono ye yannyambanga okumpa ku ssimu okumukubira bwe nnali sirina mmere.

Wano yeecwana n’adda mu mmotoka ye n’agizza emabega okutuuka ku ddirisa ly’abaana mwe baali beebase, era yamala ekiseera ng’ayimiridde kyokka yabaguka omulundi gumu n’atomera ekisenge kyonna ne kigwamu n’oluvannyuma nasimbula n’adduka kwe kukuba enduulu eyasomboola ekyalo okusobola okutaasa abaana bange.

Nga wayise ekiseera nga maze okugenda yakubira muliraanwa waffe n’amutegeeza nga bwe kikyali ekituuza era ng’essaawa yonna ajja kunzita n’abaana kuba yankoowa dda era nga kye yakola takyejjusa nako. Bannange sigenda kulinda musajja kuzitira mu nju n’abaana bange kazire ewaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi