TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo abafere ba laavu bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala abazibu

Obukodyo abafere ba laavu bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala abazibu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th July 2018

ABASAJJA ab’amazima batono. Eno y’enjogera n’endowooza abawala abakyanoonya ababeezi gye balina. Kino kivuddeko abawala abamu okusigala ku mudaala olw’okutya okugwa mu mitawaana.

5 703x422

Wabula wadde omulyammamba abeera omu n’avumaganya ekika kyonna, kino tekisaanye kumalamu bawala abato abakyanoonya ababeezi essuubi.

Buno bwe bukodyo abasajja abayaaye bwe bakozesa okutengula emitima gy’abawala bwe balina okwegendereza;

1. Bakulembeza nnyo ssente; Omukwano gwandibadde tegugulwa, kyokka bo abavubuka abalina ebigenderwa ebyabwe gamba nga okukwabula n’okunyaga abawala kye basinga okukozesa. Alaga omuwala ssente era mukazi wattu naye olw’okuba alabye ku ssente talwa ng’amusumululira sikaati era olufuna ky’agala ng’adduka.

2. Bakozesa akakodyo k’okusuubiza ebintu ebinene. Abavubuka abayaaye balimba nnyo abawala nga babasuubiza ebintu ebinene ng’emmotoka, amayumba naye ng’ekigenderwa kuba kukuggyako bibyo agende. Kale omuntu ow’ekika kino bw’omusanga mwegendereze.

3. Okwambala eby’ebbeeyi Wadde nga sibuli ayambala eby’ebbeeyi nti muyaaye naye n’abavubuka abayaaye kino bakikola nnyo okusobola okutengula abawala, era olumala okukozesa ng’akusuulawo.

4. Bakozesa akakodyo k’okwanjula ‘eηηanda zaabwe’ mu bwangu. Abavubuka bakimanyi nti omuwala bw’omulaga abeηηanda zo akutwala nti oli wa mazima. Bano olumu aba amanyi n’okubakubira ku ssimu, ogenda okukiteegera nga yali akulimba ng’oli lubuto.

5. Akakodyo k’okwekebeza omusaayi Omuwala ky’alina okumaya nti si buli muyaaye nti mulwadde, kati n’abavubuka oba abasajja abumu abayaaye bakimanyi nti omuwala ali siriyaasi asookera ku kwebeza musaayi era olukufuna akusabirawo mukikole kuba ye aba akimanyi nti mulamu. Ate abamu aba yasasudde dda ssente gye bakeberera bakulimbe nti mulamu era wano ekiddirira kuba kukukozesa kubanga naawe omwesize.

6. Beefuula abakola ennyo. Abavubuka bano buli lw’omusisinkana akulaga nga bw’alina ebyokukola era obudde bwo aba na butono nga tayagala kumumanya nnyo. Ekiddirira omuwala ng’amweyabiza n’okumuwa ebibye olubikombako ng’adduka.

7. Beefuula abeηηanda z’abantu abalina amanya amanene. Okugeza asobola okweyita mutabani wa minisita oba wa mmemba wa palamenti sinakindi okweyita muganda w’omuyimbi owerinnya era olw’okuba mukaziwattu weegomba okufuuka omunene weekanga oluguddemu ng’akukwabuddeko ebibyo.

8. Okukyusa amannya. Abavubuka abamu bamanyi okweyita amannya g’abanene naddala abo abatatera kweraga mu lujjudde okusobola okukkirizisa omuwala nti ddala omuntu gwaliko mutuufu.

9.Tebatera kutwala bawala waka waabwe. Ebiseera ebisinga omuyaaye akutwala wa mukwano gwe oba mu loogi kubanga aba amanyi nti akwagalako bya kiyaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...