TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi bye banyumya ku baagalwa baabwe

Abakazi bye banyumya ku baagalwa baabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2018

Abakazi banyumiza nnyo bannaabwe ekikula ky'enkasi yo: Nnene, mpavu, nkomole, yeewetamu n’ebirala.

Loving15 703x422

Abaagalana mu mukwano

OBADDE okimanyi nti n’abakazi balina omuze gw’okwenyumiza ku nsonga z’ekisenge? Bakakensa mu bya laavu bazudde ensonga 7 abakazi ze bageya ku basajja nga bamaze okunyumya nabo akaboozi omulundi ogusooka.

1 Eddakiika ze mwamaze mu kyeso. Bw’oba wabadde nga nkoko olwo ne batema obukule ne badda ne mu kati. Kubanga wadde okulwawo nga tonnatuuka ku ntikko si kye kiraga okumatiza omukazi, naye gwe musoose okunyumya akaboozi kyetaagisaamu okulaga ku sitamina.

Kino kiri bwe kiti kubanga abakazi balwawo kucamuka ku mulundi guno. Kale aba atandika okufuna obwagazi naye akuwe byonna, ate ggwe n'ogwa eri, kitegeeza nti omulese teyeemaze ggoga; ng’obwagazi akyabulina.

Era abakazi abamu, bw’alaba bino, yeeyiiya mu ngeri yonna asobole okumalamu akagoba . Oluusi ayinza okweyambisa engalo ze, era ebyo byonna abimnyumiza banne.

2 Era abakazi banyumiza nnyo bannaabwe ekikula ky'enkasi yo: Nnene, mpavu, nkomole, yeewetamu n’ebirala.

3 Banyumya ne ku kisaawe engeri gye baakisanzeemu oba omuddo muto oba gwaduumuuka dda! Naye kino tekisaanye kutiisa basajja kubanga okumatiza omwagalwa wo kiva ku bukodyo bw’ossa mu sitayiro gye mukozesa; naye si bunene bwa nkasi.

Abakugu bano ab'ekitogole kya Victoria Milan ekisangibwa mu Bungereza, baagambye nti okunoonyereza kuno baakukoze mu mawanga 33.

Wabula akulira ekitongole kino, Kakensa Sigurd Vedal, yagambye nti abakazi banyumya ku biyiwayo abasajja bano kubanga baba batya nti mu bawala bannaabwe be banyumiza muyinza okubaamu atabwekebera n'atandika okwekwanira omusajja ono naye agabane ku by'amagero by’oba omunyumizzaako.

Kale bw’aba akwagala ajja kunyumya ebyo bye yabadde ayagala okole ne bw’oba nga tewabimukoze. Nga muli mu nda ye amanyi nti ajja kugenda akubangula akutuuse ku ddaala ly’akwagalako. Naye bw’aba takwagadde nga yabadde akunoonyaako bibyo oba nga wamutaayizza, olwo ateekamu n’ennyongeza ne banne bakusekerere afune ensonga gye yeekwasa lwaki takyakuddira.

Baazudde era ng’abakazi banyumya nnyo ku budde omusajja bw’amala ng'ali awo atitibana okutandika akaboozi.

Era wano we banyumiriza ne kkiisi ze wamukubye oba zaabadde ziraga obukugu oba obwa kikojogo. Bw’oba walaze olusonyinsonyi n'ozibirira nga tewasoose na kukwata ku balongo, wano byonna w’abyogerera. Leero nno bw’oba wakombye ebbakuli, byonna talekaayo mpozzi ayinza kukuggyako bubonero bwa ddakiika entono ze wamaze; bwaba nga yabadde ayagala nnyingi.

Kale abasajja mugendenga mu kaboozi nga mumanyi, mulongoose omulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...