TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 12 abakazi bye bagayaalirira mu maka

Ebintu 12 abakazi bye bagayaalirira mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2018

1 Obucaafu. Buli musajja anyumirwa awayonjo, si nsonga ye ne bw’aba mucaafu. Ggwe kennyini olina okweyonja, ebintu by’okozesa, ekifo we mubeera, abaana n’ebirala.

Pint 703x422

Bano abaagalana baabadde bagenze kwewaamu gye buvuddeko.

“NZE Joweria Namutebi 40, mbeera Kasubi. Nafuna obuzibu mu bufumbo ne twawukana n’omwami kwe kwepangisiza omuzigo.

 

Wabula guno gwannema kwe kugenda ewa muto wange neewogomeko awo nga bwe njiiya ekiddako. 

Muto wange abeera mu muzigo gwa bisenge bibiri ne bba ate nga balinawo n’abaana, wabula teyangoba.

Kati mpezezzaawo emyezi munaana, naye emirimu nginoonyezza gikyambuze.

Mulamu wange abadde ampisa bulungi era ng’oluusi ampaayo ne ku ssente mbeeko bye neegulira ng’ebizigo n’okusiba enviiri. Muto wange musuubuzi era omulimu gumutwalira nnyo obudde.

Ebbanga lye mmaze ne mulamu wange talina kye yali annyeze, wabula gye buvuddeko, twafi iriddwa muto wange n’agenda okuziika nze ne nsigala awaka.

Nabadde neebase mu ddiiro bulijjo we nsula mulamu n’ajja ng’ayagala twegatte. Nagaanyi wabula ng’awoza kimu nti muto wange yagenze okutulekawo ffembi era ng’akimanyi nti tujja kwegatta.

Katonda yannyambye ne mwetaawuluzaako ne nfuluma era nasuze bweru. Okuva olwo mulamu anfuukidde ekizibu kyokka ntya okubigamba muto wange.”

Emirundi mingi abawala n’abakyala abali mu bufumbo bagayaalirira ensonga ezimu oluusi ekiremesa obufumbo bwabwe okutambula.

Edith Mukisa omukugu mu nsonga z’abafumbo yagambye nti ekizibu kisinga kuva ku ky’abawala okuyingira obufumbo nga tebafunye kubuulirirwa.

Yagambye nti bassenga abasinga emirimu gyabwe baagivaako, ate bassenga abagule be batera okutwalira abaana bano basinga kussa ssira ku bya mu kisenge naddala okwegatta kyokka, ne beerabira ebintu ebirala eby’omugaso ennyo ekireetera abakyala okukola ebintu eby’obulagajjavu mu maka okukkakkana ng’abasajja bayenze n’amaka gasasise era ebimu kubyo bye bino

1 Obucaafu. Buli musajja anyumirwa awayonjo, si nsonga ye ne bw’aba mucaafu.

Ggwe kennyini olina okweyonja, ebintu by’okozesa, ekifo we mubeera, abaana n’ebirala. Kyokka kino abakyala abamu balemwa okukituukiriza obucaafu ne bwefuga awaka. Kino kikanga omusajja era bw’afunayo omukazi omuyonjo anaamuwummuza ku bucaafu bwo ng’akuviira.

2 Okulengezza abasajja. Abakyala ennaku zino olw’okuba nabo bafunye ku ssente abamu kati baagadde okufuuka abasajja , nalemwa okuwa omusajja ekitiibwa ate nga buli musajja akinoonya mu mukyala we. Omusajja n’abeerawo nga mukyala we tamuwangako kintu ng’afukamidde, ate nga ye omukozi gwe yaleeta awaka, buli kimu ddadi akimuwa afukamidde. Olw’okuba omusajja ayagala okuyisibwa ng’omusajja ate nga ggwe mukyala we tokikola ekivaamu kuganza mukozi ono.

3 Abakazi okusembereza abasajja baabwe eηηanda zaabwe ezitaliiko kkomo. Si kibi okubeera n’abeηηandazo ng’omukyala awaka naye abamu basukka. N’aleeta muto we ate n’amuwa obuvunaanyizibwa okulabirira omwami we, nga y’amanya ky’alidde, y’amutegekera ku makya by’anaayambala ne by’alya, ekivaamu n’omwami kutendewalirwa ne yezza mulamu we.

4 Obutalabirira basajja. Abasajja bonna beetaaga kuyisibwa nga balangira, ng’omukyala amufumbira emmere ate n’agimuwa ng’eyokya ne bw’aba aluddeyo. Alina okumwoleza, okumugololera, okulongoosa byonna ebimukwatako n’okubitegeka. Kyokka abakyala abamu kino kibalema omusajja we n’atuuka okulabika ng’atalina mukyala waka ekiddirira omusajja naye ng’anoonyaayo amulabirira.

5 Abakazi okulekera abakozi obuvunaanyibwa bwabwe eri abasajja n’amaka gonna. Wadde omukozi avunaanyizibwa okukola emirimu gy’awaka naye omukyala oteekeddwa okubaako emirimu gye weesigaliza nga maama awaka.

6 Okuyingiza emikwano gyammwe ekisusse. Emikwano gyetaagisa okubeera nagyo era n’okugiraga balo, wabula walina okubaawo ekkomo wakati w’omusajja wo n’emikwano. Kyokka kino abakazi abamu kibalema ne weesanga nti omukyala yennyini y’ayamba bba okussaawo enkolagana ey’amaanyi wakati wa bba n’emikwano gino.

7 Okuyomba mu bakazi. Okuyomba kimalako abasajja emirembe, kyokka ng’eriyo abakazi abatamanyi nti kibi era oluusi batuuka n’okwewaana nga bwe bamanyi okuyomba. Bw’osussa okuyomba omusajja yeetamwa era n’omukwano gwalina gyoli gujungulukuka.

8 Okulemwa okulabirira abaana b’abasajja. Omusajja yenna ayagala omukyala alabirira abaana be bonna omuli ne b’atazaala. Wabula abakyala batono abafaayo ku baana be batazaala.

9 Obutafaayo kusanyusa musajja mu buliri. Kino kitwaliramu ebintu bingi wadde ng’abakyala bakitunuulira ku ngulu, n’atunuulira kimu kya mazzi g’alina, engeri gy’ayimbamu oluyimba lw’eggwanga, ne yeerabira nti bino birina okugendera awamu n’obukodyo obupya bw’ayiiyizza. Ekirala abamu tafaayo nti amazzi amangi getaaga ebinaagasiimuula. Bino bw’otobikola omusajja yeetamwa.

10 Okweraguza n’okufuuwa emmindi. Abakyala abamu balowooza nti omukwano oba amaka gatambulira ku kweraguza n’okulunda eddagala mu mmindi. Kino omusajja bw’akimanya naddala nga tabikkiririzaamu kiba kizibu okusigala nga mukyakolagana.

11 Okuseetula olugambo. Eno omukyala ayinza obutagitwala nga nsonga kuba abeera anyumya na mikwano gye, naye omusajja bw’akimanya kyangu okuvaako waya kubanga abeera akimanyi mu lugambo lwe baseetula naye balumuyingizaamu.

12 Obutasiima. Buli muntu ayagala okusiimibwa, ate abasajja banyumirwa nga munne alaga nti ky’amukoledde akisiimye. Wabula abakazi abamu ne tebagitwala nga nsonga era abamu eby’okusiima abaami baabwe baabivaako dda.

Mukisa yagambye nti emirundi mingi abasajja beesanga beenyigidde mu bwenzi naye ng’oluusi obuzibu buba ku mukyala okulagajjalira ebintu ebimu mu maka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO