TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuyoyaayoya akaboozi buba bulwadde - basawo

Okuyoyaayoya akaboozi buba bulwadde - basawo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2018

EKITONGOLE ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku byobulamu (WHO) kirangiridde nti okuyoyaayoya akaboozi buba bulwadde obwetaaga okujjanjabwa.

Blackcoupleinbed 703x422

Abaagalana nga bali mu kisenge

Ekitongole kino kyalangiridde mu mwezi oguwedde nti okwagala ennyo akaboozi ze zimu ku ndwadde z’omu mu bwongo.

Ne kitegeeza nti abantu abalina obulwadde buno olumu bakola ebintu nga tebasoose na kulowooza ku bigenda kubaviiramu.

Okwagala okukola eby’obukaba olumu kyeyolekera mu kunyumya akaboozi, okwemazisa, okulaba ebifaananyi by’obuseegu, okugula bamalaaya n’okunyumyanyumya ebiboozi ebikwata ku kwegatta buli kiseera.

Kyokka eky’ennaku obulwadde buno bubadde tebunnafunirwa ddagala.

Okusinziira ku mukugu mu by’endwadde z’emitwe e Bungereza, Dr. Valerie Voon, okuva mu ttendekero lya Royal College of Psychiatrists abalina obulwadde buno tebatera kuvaayo kuba tebamanya nti balina ekikyamu ate era bibaswaza.

Yagambye nti alina essuubi nti obulwadde buno olumu bujja kutandika okujjanjabwa okugeza ng’okunakuwala n’okweraliikirira bwe baabifunira eddagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we