TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Buubuno obuwoowo bw’abakazi obukubisa abasajja saluti

Buubuno obuwoowo bw’abakazi obukubisa abasajja saluti

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2018

OBUWOOWO bw’abakazi obumu buyamba abasajja okukuba saluti. Era abasajja bangi bwe baliraana omukazi eyeekubye akawoowo akalungi, batandika okukwata mu mpale okuziyiza okulaba zzipu zaabwe bwe zeereeze.

34212usbeautyluxuryfragrancetile670520 703x422

Abakugu baazudde nti era omukazi alina akawoowo akalungi bw’aba mu kifo omusajja w’ataasobolere bya kaboozi, kwe kuwulira nga beesooza (abasajja).

Era omusajja okwebaka mu buliri omuli akawoowo k’omwagalwa we, anyumirwa otulo ne yeebaka Bukeerere tebuzindwa. Wabula akabi kali ku muwala kukyawa musajja!

Kubanga omusajja ono buli lw’awulira akawoowo k’omwagalwa we awulira ng’ajula okufi irawo. Bino bye byazuuliddwa Pulofeesa Jeannette Haviland- Jones owa Yunivasite y’e Rutgers mu New Jersey nga mukugu mu by’omukwano.

Wabula era yazudde nti bino byonna bikola ng’akawoowo kano weekubye ka kigero.

Naye bwe kasukka, ne kaleetera omusajja okwasimula, okwayuuya olwo ate ng’obudde bulemye, kuba saluti eba tejja kusituka, era eby’akaboozi biba biremaganye.

Kino kiri bwe kityo kubanga akawoowo bwe kaba kalungi, kayambako ku lusu oluyinza okuva mu bantu nga bali mu kaboozi naddala abanene.

Kubanga abanene batuuyana nnyo olw’ennyingo ze balina ennyingi ku mubiri gwabwe.

Era kye bava bateekeddwa okumala ebbanga eddene nga banaababaggye ekko mu nnyingo z’omu biri zonna.

Obubonero obulala kw’oyinza okulabira nti akawoowo ko omusajja tekamukoze bulungi, kwe kufuna ‘alaje’ oba okuyiwa ebirogologo.

Wabula obuwuuwo buno buloopa nnyo abasajja abalina embaliga mu ngeri nnyingi. Buba buwunya ng’okomyewo awaka, olwo maama w’abaana n’akubuuza gy’obuggye.

Ate no bw’akukwatako nga n’amaanyi mu buliri tolina, kuba ow’akawoowo yagamazeemu olwo wamma ggwe ne zidda okunywa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kani4 220x290

Kanye West ne Kim Kardashian baawaanye...

Omumerika Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian bacamudde pulezident Museveni.baawaanyi Uganda baagiyise ggulu...

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde