TOP

Omuwala muyise bw’oti akutamiire

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2018

EBISEERA ebisinga omusajja ayinza okwegomba omuwala naye ng’omuwala ono naye alinayo abamuperereza.

Happyafricanamericancouplehavingrestcozyhomelaughingdrinkingwinefamilyleisurelazyweekendrelaxation108175636 703x422

Kati oba olina okukola ebintu ebisukkuluma ku balala okusobola okumutega akamasu. Bino bye bimu ku by’oyinza okukola;

1 Sooka omufuule mukwano gwo. Mufuule mukwano gwo omanye by’ayagala n’engeri gy’atambuzaamu obulamu bwe. Mulage nti omufaako era oyagala nnyo abeere mu mbeera ennungi.

Mukubire ku ssimu omubuuzeeko ate fuba okulaba nti okola ebintu by’ayagala kino kijja kumukyusa ebirowoozo atandike okukulowoozaako okusinga abalala.

2 Manya by’asinga okwagala. Olina okumanya ebimusanyusa era otandike okubikola ate obyagale n’omutima gwo. Kino kijja kumuleetera okukulowoozaako kubanga abakazi baagala nnyo abasajja abakola ebintu bye baagala.

3 Mulage okufaayo okw’enjawulo. Abawala baagala nnyo okufuna omuntu amufaako ng’amulaga nti amwagala. Kati gwe omusajja bw’oba oyagala okumutamya amuperereza mulage okufaayo okw’enjawulo.

Okugeza oyinza okumukubira essimu emirundi ng’ena, oba okumuweereza obubaka ku ssimu ye obumutegeeza nti omwagala. Kino kijja kumuleetera okukulowoozaako ng’omusajja afaayo era ajja kukwagala.

4 Muwe ekitiibwa. Tomuleetera kuwulira nti omuweebuula wabula mulage nti omuwa ekitiibwa ekimugwanira era ofube okulaba nga tomuswaza mu bantu. Kino kijja kumuleetera okukwagala kubanga abakazi baagala nnyo abasajja ababawa ekitiibwa.

5 Manya obunafu bw’omusajja amuperereza. Olina okusooka okumanya obunafu bw’omusajja amukwana. Ssinga omusajja ono mwenzi, amulumya oba tamuwa kitiibwa gwe omulaga nti togenda kumulumya, ojja kumuwa ekitiibwa ate omubuddeebudde. Kino kijja kukyusa endowooza ye ajja kulekayo amukwana ajje gy’oli.

6 Beera mwesimbu. Abakyala baagala nnyo abasajja abalambulukufu era gwe bw’oba oyagala okumusuuza oyo abadde amukwana beera mwesimbu era tomugattako muwala mulala.

7 Mukolere ky’atasuubira. Teri kisinga kusanyusa bakyala ng’okubakolera obubaga obwo, kimulaga nti omwagala okugeza oyinza okumukolera akabaga k’amazaalibwa oyinza okumutwalako awutu oba n’omugulira obulabo obutali bwa bbeeyi nnene. Kino kimuleetera okuwulira nti omwagala era ajja kukwagala aleke abalala.

8 Mugambe nti omwagala. Bw’oba oyagala omuwala oyo engeri ennyangu ey’okuyingira mu mutima gwe kwe kumugamba nti omwagala era okimulage era omulage okufaayo gy’ali n’abantu b’asinga okwagala.

9 Yambala bulungi. Abawala baagala nnyo abasajja abambala obulungi ne batabaswaza mu mikwano mu mikwano gyabwe. Kati ggwe bw’oba oyagala okuwangula mutima gw’omuwala ono yambala bulungi naddala engoye ezikunyumira wadde nga si za bbeeyi, ate beera muyonjo. Bino bw’onoobikola ojja kumusikiriza alekewo abalala abamukwana agende naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO