TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okubuulirira abaana abalenzi: Tosuulirira buvunaanyizibwa bwo

Okubuulirira abaana abalenzi: Tosuulirira buvunaanyizibwa bwo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2018

GYEBALEKO Frank. Munno abadde wano n‛ambuulira nti okusasula fi izi wakuvaako ng‛omugamba nti kasita naye akola. Era n‛aηηamba nti n‛oluusi omukuba era n‛omuvuma obusiru, alowooza nti olina omukazi omulala gw‛oyagala okuwasa.

Ssenga1 703x422

Yagasseeko nti awuliriza emboozi gy‛onyumya n‛omukazi oyo gw‛okwana ng‛olengezza maama w‛abaana bo ali awaka.

Mwana wange oba oyagala okuwasa osobola okuwasa kubanga gw‛omanyi obuvunaanyizibwa bw‛olina era omanyi ensonga lwaki owasa.

Naye ky‛olina okusooka okumanya nti bw‛oba owasa oba towasa obuvunaanyizibwa bw‛abaana b‛ozaala bubwo. Tosobola kulekera mukyala buvunaanyizibwa kubanga akola.

Ekirala, omukyala ow‛awaka bw‛oba omukyaye mwesonyiwe tomuvuma.

Okukyawa omuntu kyabulijjo naye kirungi okusigaza omukwano n‛omukyala gw‛ozaddemu abaana era ne bw‛aba muntu mulala yenna okwawukana obubi si kirungi.

Abasajja abamu baagala okwawukana obubi kubanga tebaagala buvunaanyizibwa ne baleka abakyala nga batawaana n‛abaana nga balinga abataliiko kitaabwe.

Kimanye nti omulembe gw‛okukuba abakazi gwaggwaawo dda, era omusajja akuba omukyala ennaku zino bamwewuunya kubanga wabaddewo okusomesa kungi nga babuulirira abasajja obutakuba bakyala. N‛ekirala ssinga omukyala naawe akukuba owulira otya?

Ekirungi osobola okupangisa ennyumba endala n‛owasa. Wasa naye omukyala ono n‛abaana baleke mu mirembe.

Obuvunaanyizibwa tobwerabira abaana babo era olina okubalabirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...