TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baka balamu bange bannemesezza eddya

Baka balamu bange bannemesezza eddya

By Musasi wa Bukedde

Added 17th August 2018

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe ne ntandika okugamutokosereza.

Genda1 703x422

Baze ono omuvuzi wa bodaboda nga tubeera naye mu Bwaise Zooni A naye ng’ebiseera ebyo nnali sirina mulimu era nga sikola naye nga twagalana okukamala.

Waayita akaseera katono ne wabaawo omuwala eyanfunira omulimu ogw’okukola mu kawooteeri ku lidda ku Eden e Bwaise.

Wabula nasanga obuzibu kuba bakyala ba balamu bange baatandika okunsibako ebigambo nga bagamba baze nga bwe nnina abasajja ba takisi abaali bankwana ekitaali kituufu.

Olugambo luno lwaggya bazze mu mbeera kuba buli bwe yakomangawo okuva okukola, yatuukiranga mu kunkuba bikonde na nsambaggere nga kw’ateeka okumbuuza abasajja bano abaali bansigula.

Lumu nagenda okulaba nga kiyitiridde kwe kusalawo okudukira ku poliisi y’e Wandegeya gye nasula.

Enkeera nagenda n’abaserikale awaka, wabula nnyazaala wange n’azibikira emize gya mutabani we kuba amaka gaffe n’agage gaali geeriraanye.

Oluvannyuma nnyazaala yasalawo okundabirira kuba nnali lubuto lwa mutabani wange, Ishami Ssejjemba ow’omwaka ogumu n’emyezi mukaaga kati.

Wabula wadde nnali sikyabeera wa Lutaaya, yanneewerera okunsamba mu lubuto luveemu okuggyako nga maze okumubuulira nnannyini lwo ng’agamba nti si lulwe.

Nnali mbuzaayo akaseera katono okuzaala, muganda wange n’ampeereza keesi bbiri nga zijjude engoye wabula omuntu wa nnyaazaala wange n’azinzibako.

Bwe nabagambako, badda mu kunkuba nga bwe bagamba nti nnali mbawaayiriza. Natuuka okugenda okuzaala nga sirina kantu konna kuba n’omusajja yali takyampa buyambi.

Waliwo omusajja omukulu eyantwala mu ddwaaliro ne nzaala oluvannyuma ne tugenda ewa maama wange e Matugga gye nabeera akaseera ne nvaayo ne nzira ewa nnyazaala wange.

Wabula olumu ssente zaabula mu nnyumba ne bampaayiriza nti nze nali nzitutte. Bwe nagezaako okwegaana, badda mu kunkuba era okukkakkana nga ngobeddwa.

Kati nsula ku luguudo kyokka ekisinga okunnuma buli omu yali ayogera muwendo gugwe nga tewali yeekakasa kuba abamu baali bagamba mitwalo 20, abalala 30 ssaako 40, ekiraga nti baali balimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.