TOP

Omuwala saagala kumuwasa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2018

NZE Derrick Nambafu ow’e Mbale. Nazaala omwana mu muwala kati wa mwezi gumu naye saagala kumuwasa naye anneesibyeko. Mpa ku magezi.

Think 703x422

Okusookera ddala okuzaala mu muntu tekitegeeza nti oba omwagala era olina okumuwasa lwa mpaka.

Nkimanyi abazadde ennaku zino batera okusiba abaana baabwe abalenzi oba abavubuka naye kino tolina kukikkiriza.

Omuwala bw’aba tanneetuuka mu buli ngeri gubeera musango naye era tekitegeeza kumuwasa.

Wabula mu mbeera yonna olina obuvunaanyizibwa okulabirira omwana gw’ozadde oba omuwala muto oba ozadde mu mukazi mukulu.

Mwana wange n’ekirala ky’olina okumanya nti waliyo abawala abaagala okwesiba ku basajja oba abavubuka. Era okusinga bafuna embuto olwo omuvubuka n’amutwala.

Naye oba tomwagala era tokkiriza kumutwala nga mukyalawo. Wabula olina okulabirira omwana. Oba omuwala tanneetuuka olina okukikola mu magezi kubanga olw’obusungu ayinza n’okukuwaabira.

Naye oba omuwala mukulu, oyo mu mateeka alina okwesalirawo. Kale oba yasalawo afune olubuto ggwe ng’omusajja amuzaalamu naawe wasalawo omuzaalemu olina okutwala obuvunaanyizibwa okulabirira omwana.

Jjukira nti tewasalawo wabula ng’omuzaddemu omwana naye obuvunaanyizibwa bwe bubeera. Ekikulu kulabirira mwanawo ne nnyina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye