TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okusiba emmere ku mikolo kiswaza omwami waffe

Okusiba emmere ku mikolo kiswaza omwami waffe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2018

KULIKA embaga ya Nakiwala era weebaale kuyamba mugandawo okufuna omusajja era n‛okukola emirimu ku mbaga ne mu kwanjula. Naye omwami waffe yambuulidde nti olina omuze ogw‛okwetikka emmere buli lw‛ogenda ku mikolo.

Ssenga 703x422

Nti weetikka emmere nnyingi ate n‛etuuka n‛okwonooneka ate ng‛oba olyawo wandibadde ogirekera abalala.

Omwami aswala kubanga mu mbeera eno abantu basobola okulowooza nti tagula mmere waka.

Simanyi gye wayigira muze guno, kubanga bwe twagendanga ku mbaga nga tutwala ekyo kyokka kye batuwadde. Era ng‛okuggyako nga batuwadde emmere olwo nga tugisiba.

Naye kati okwetikka emmere ku buli mukolo gw‛ogendako kiraga nti otandise omuze omubi.

Ennaku zino nange nkiraba nnyo ku mikolo ng‛abantu basiba emmere. Ate bagisiba mu bubba. Bannannyini mukolo tabagibawa.

Osanga n‛omukyala omukulu ng‛olumuwa emmere ng‛aggyayo akaveera ng‛agisiba ate ng‛agamba abagabuzi nti tannafuna mmere. Mwana wange omuze guno gulaga omuntu atalina mpisa.

Ne bw‛oba tolina kyakulya olina okwerekereza n‛olaga empisa ku mikolo oba mu kifo kyonna.

N‛ekirala, ng‛omwami bw‛agambye ddala bwe balaba ng‛omukyala asiba emmere ku mikolo balowooza nti omusajja awaka tamugulira mmere ate naffe bazadde bo kiraga nti tetwakukuliza mu mpisa.

Mwana wange olina okulaba ng‛omuze guno oguleka. Ate weewunye, ositula nnyingi ate n‛eyonooneka, ogwo ate gubeera mululu.

Ate n‛omuze ogw‛okubeera n‛omululu si mulungi. Komya okutuswaza era komya okuswaza omwami wo era naawe kennyini oswala. Okusiba emmere kikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...