TOP
  • Home
  • Ssenga
  • OKUBUULIRIRA ABALENZI: Kendeeza ku mwenge gw'onywa

OKUBUULIRIRA ABALENZI: Kendeeza ku mwenge gw'onywa

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2018

TULINA okunyolwa kwa maanyi kubanga ennaku zino kigambo mwenge kifuuse kizibu mu maka gaffe.

Blackmanalcohole1470136518562690450crop80 703x422

Muwala wange yaηηamba nti oluusi osula era n‛otokola kuba oba mukoowu. Omukyala agamba nti oluusi bakukomyaawo nga weefukidde mu mpale ate abakukomyawo be basajja ab‛oku kyalo oluusi b‛okozesa ku ffaamu.

Mwana wange buli kintu kyonna bwe kiyitirira kifuuka kizibu mu bulamu bw‛omuntu.Omwenge si mubi kw‛abo abagunywa obulungi.

Naye ssinga guyitirira guleeta ebizibu mu maka. Era abantu basalawo okwewalira ddala omwenge.

Ate era waliyo n‛eddiini etekkiriza kunywa mwenge olw‛ebizibu ebisobola okuvaamu. Ekintu kyonna ekitamiiza si kirungi, wabula ssinga weepimira kalekaleko.

Ekibi nti bangi tebasoboola kwepimira. N‛ekirala omwenge guweebuula nnyo naddala ssinga ogunywa n‛oyitawo. Laba bw‛oswala mu baana bo era n‛abantu ku kyalo omusajja omukulu okwefukira mu mpale.

Oba olina ekikutawaanya mu birowoozo ng‛olowooza nti omwenge gusobola okukuyamba weerimbye.

Abantu bangi batandika mpola nga banywa omwenge mbu beerabire ebirowoozo naye bagenda okulaba ng‛ebizibu tebigenda ate ng‛embeera yeeyongera kuba mbi.

Kati bw‛ogamba nti olina ebizibu omwenge teguggyaawo birowoozo, wabula embeera yeeyongera kuba mbi.

Ennaku zino waliyo ababudaabuda abantu abasobola okukuyamba ssinga obeera n‛ebizibu era nga bw‛olina ku kasente kirungi obalabe, bajja kukuyamba.

N‛ekirala olina emikwano mingi gy‛osobola okubuulira ebizibu byo. Naye mwana wange omusajja eyali oweekitiibwa ku kyalo kati ofuuse kirala.

Ate n‛abaana baffe baswala nnyo bwe bakulaba mu mbeera eyo. Omukyala agamba emirimu gigenda gifa kati nga bw‛omanyi abaana baffe bakyali bato ssente bwe zinaakendeera banaasoma?

Mwana wange nkubira ku ssimu twogere ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...