TOP

Buli ggwe nneegatta naye tayoya kunzirira, kiki ekindiko?

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2018

NDI wa myaka 37, naye buli mukazi gwe neegatta naye tayagala kuddamu kumpa kaboozi. Kino olowooza kiva ku ki? Nze S.S.S. e Masindi.

Ssenga1 703x422

Munnange olina naawe okwetegereza embeera oba empisa zo. Oyinza okuba ng’okwana abawala oba abakyala ng’oyagala kwegatta nabo wabula nga tobaagala.

Ky’olina okumanya nti abawala n’abakazi si basiru nga bw’olowooza era bwe bamala okwegatta naawe nga bakwesonyiwa.

Ate ennaku zino kyangu okwegatta n’omuntu naddala ng’olina ssente naye nga mu butuufu takwagala.

Ekirala oyinza okuba ng’olina emize era nga gino gye gigoba abawala n’abakazi b’oba weegasse nabo.

Ate waliyo abasajja nga tebasanyusa mu ndabika oba embeera zonna. Kale ng’omukyala takwegomba nnyo ne bw’obeera ne ssente era bw’amala okuzifuna ng’akwesonyiwa.

Ddala oli muyonjo, weefaako, oyogera bulungi era abakyala obayisa bulungi? Kati olina emyaka 37 neebuuza tolina mukyala?

Kubanga oyogedde ku kwegatta ekitegeeza nti oyinza okuba nga tolina mukyala. Kale mwana wange weetegereze empisa n’embeera.

Oba toli mufumbo ndowooza nti wandibadde ofaayo okufuna omubeezi okuggyako nga toyagala.

Kubanga okuze ate emyaka gy’ogendamu weetaaga okubeera n’omuntu mu bulamu bwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10

Masazaweb 220x290

Ab'amasaza beegaanyi okulera ttiimu...

Abaddukanya amasaza beegaanyi ebigambibwa nti balina ttiimu ze balera nga baagala zituuke ku fayinolo