TOP

Omwana asusse okumbuuza kitaawe

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

OMUSAJJA ggwe nasookerako yammennya omutima gwange. Olwanfunyisa olubuto n’ambulako teyaddamu kulabikako. Kati omwana ambuuza kitaawe kyokka simanyi bimukwatako.

Boss 703x422

Nze Shamim Lunkuse mbeera Kawempe. Twasisinkana n’omusajja mu kimu ku bifo ebisanyukirwaamu e Bwaise gye nnali hhenze okusanyukira ne tusiimagana.

Mu kiseera ekyo nali nnina emyaka 15 nga mbeera ne mukulu wange e Kikaaya ekisangibwa mu Ggombola y’e Nakawa.

Twayagalana okumala akaseera n’anfunyisa olubuto kyokka olwakizuula, yandaga nti akisanyukidde kuba yali tazaalangako ate ng’ansuubizza ebintu bingi omuli n’okumpasa.

Embeera z’omusajja zaatandika mpola okukyuka n’atandika okwekweka nga takyayagala kundabako wadde okuwuliriza kye mugamba.

Embeera yankalubirira nga sirina buyambi bumala newankubadde nnali nnina okugenda mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi kuba olubuto lwali lukuliridde.

Omusajja yatuusa ekiseera n’abulira ddala ku kyalo n’essimu n’agikyusa nga sikyalina bwe nyinza kumufuna.

Nagezaako okutuuka mu kyalo e Butambala gye bamuzaala okumanya ebimufaako naye nasanga bazadde be baafa nga tewali ayinza kunnyamba wadde okukola ku bizibu byange. Embeera eno yannyigiriza okutuusa bwe nnazaala omwana.

Kati wayiseewo emyaka 13 nga nzadde omwana ow’obuwala naye simanyi bikwata ku kitaawe wadde okumuwulizaako.

Bino byonna osanga nandibigumidde naye omwana wange buli olukya ansaba mulage kitaawe ekintu ekimmazeeko emirembe.

Omwana akuliridde kati ali mu siniya naye yeetaaga obuyambi, obujjanjabi n’ebirala naye nkaluubirizibwa kuba nange embeera ennyigiriza olw’obutabeera na ssente zimala.

Simanyi kyakukola nsaba kumpa ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo