TOP

Omuwala ankaka mmuwase

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

NNINA omuwala naye buli kiseera agamba nti ayagala kumuwasa. Okusookera ddala omuwala ono talina mpisa ate, tamanyi kufumba era bw’akyala ewange tulya rolex oba kikomando, mucaafu ate ayagala ssente okukamala. Ssenga nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

OKUSOOKERA ddala ggwe kennyini ggwe osalawo oba oyagala omukyala ono okufuuka mukyala wo oba nedda.

Nsuubira oli musajja mukulu ng’osussa emyaka 18 era osobola okwesalirawo. Oluusi abantu balemererwa okusalawo olw’ebigambo omuntu ono by’akugamba ate oluusi asobola n’okukuteeka ku puleesa ng’ayagala okole ky’ayagala. Oluusi embeera eno ebeerawo mu maka.

Ne weesanga ng’okoze ekintu ky’otoyagala. Kati weesalirewo oba omuwala tomwagala bulungi naddala mu mbeera z’omukyala awaka tomuwasa.

N’ekirala bw’oba omwagala, yogera naye wabula ssinga agaana okukyusa, noonya anaasobola obufumbo kuba oyo si mukyala mutuufu kuwasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo