TOP

Okubulwa ezzadde kunemesezza eddya

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

EYAYIMBA nti obufumbo ye mwana yali mutuufu era kino nkirabye nkuze nti obufumbo okubaamu essanyu mulina okubaamu ku mwana. Nze Angella Mbambu, 25, ndi mutuuze mu Church Zooni e Wabigalo.

Take 703x422

Maze emyaka egisoba mu ena mu bufumbo naye sirina ssanyu lya mwana oluvannyuma lw’abasawo mu ddwaaliro e Mulago okunkebera ne bakizuula nti nnina ebizimba ku nnabaana.

Ntambudde mu malwaliro ag’enjawulo nga njagala kuzuula ekiηηaanyi okuzaala omwana okutuusa abakugu bwe baakantemye nti ekizibu kino kiva ku bizimba ku nnabaana.

Maze ne baze ebbanga mu bufumbo kyokka tetukyafuna ssanyu lya mu kisenge olw’okuba nnumizibwa mu lubuto ebiseera ebisinga era nga kino kirabika kye kivuddeko n’okulemwa okufuna olubuto.

Baze akolera Kampala naye omulimu gyali bamukozesa ate ssente afuna za lunaku noolwekyo embeera si ya mulembe mu maka gaffe.

Ate nze nkola gwa kusiba nviiri naye ne bizinensi yannemerera kuba kapito yenna mumalira mu bujjanjabi.

Nze mbadde nzijjanjaba ne maama wange mu kyalo kuba mulwadde wa puleesa ne ssukaali kyokka sikyasobola kuba ssente sikyalina.

Osanga kitange ssinga abaddewo yandinnyambye kyokka yafa n’atuleka nga tukyali bato.

Kati kwe kusalawo okujja mu Bukedde nsobole okufuna obuyambi bwa ssente oba okumpa ku magezi nsobole okugenda e Kawempe mu ddwaaliro ly’abakyala okulongoosebwa ebizimba mu lubuto.

Alina obuyambi nfunira ku nnamba y’essimu 0784498999.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.