TOP

Emiggo n’omwenge mbikooye

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

NZE Scovia Irachan 24 ,ndi mutuuze w’e Kazo - Lugoba mu Munisipaali y’e Kawempe. Twalabagana ne baze emyaka ena n’ekitundu egiyise ku Arua Park gye nali nkolera.

Sector 703x422

Yasooka kuba mukwano gwange, oluvannyuma n’afuuka muganzi wange okukkakkana nga tufuuse bafumbo kuba buli omu yali asiimye munne.

Baze yali akola gwa kwetikka migugu ku Arua Park mu Kampala. Era empisa ze yandanga kye kimu ku byampaliriza okumukkiririzaamu nga ndowooza nti nfunye omuntu omutuufu.

Wabula olwantwala mu maka ge wamma nange ne ndoza ku bukambwe bwe. Ekisooka, nga naakabeera naye ebbanga ttono, yansaba nzikirize omuwala muganda wa mukwano gwe tubeere naye awaka kuba muganda we teyalina busobozi.

Namulabirira bulungi kuba omwami wange yali ansabye mu mirembe kyokka kye saamanya nti nali ndabirira muggya wange mu nju.

Olumu nazuukukanga ekiro nga simulaba, bwe yakomangawo ng’aηηmba nti ava kufuuyisa ekyo ne nkitegeera.

Natandika okumwekengera kuba kyali kisusse era lwali lumu kwe kubeesangira kiro mu ttumbi nga basinda omukwano mu ddiro.

Bino byagenda okubeerawo ng’omuwala ali lubuto. Ekyokubiri, omuwala olwazaala omwana, yamunsuulira oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba ne mulabirira era kati ali mu kisulo gy’asomera.

Nze nnina abaana babiri era omukulu atuuse okusoma naye omusajja yagaana okumusasulira fiizi.

Bannange byonna mbadde mbigumidde nga njagala tukuze ezzadde lyaffe naye omusajja asusizza obukambwe, buli lw’anywa n’atamiira, olukomawo awaka ku nze n’abaana bange kwatuukira n’atukuba awatali nsonga.

Lumu yansamba mu lubuto n’anjuza olukindo era awo nasooka ne nzirayo ewaffe, kyokka n’anonayo ng’agamba nti akyusizza ku mpisa wabula tewayiise bbanga n’addamu n’ankuba kwe kugenda ku poliisi y’e Kawempe ne bamuggulako omusango ku fayiro nnamba SD:REF: 80/30/7/2018.

Abafamire yange baamukoowa tebamwagala olw’okuba tabawa kitiibwa, antulugunya, yatuuka n’okuvuma maama wange nti malaaya.

Abaana balwala buli kiseera kuba tebalina ndabirira nnungi, bwe ngezaako okutambula nnoonye emirimu ndabirire awaka ng’annangira obwenzi.

Nsaba omuntu yenna alina obuyambi anziruukirire ku nnamba y’essimu 0759148415. ‘Omusajja muviire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...

Kiwalabyeweb 220x290

Kiwalabye awangudde Omutanzania...

Frank Kiwalabye oluwangudde omusipi gwa Africa n'alangirira bwakolerera ogw'e nsi yonna

Ndiko 220x290

Muwala wa Nyombi Thembo asaliddwaako...

FAMIRE ya Nyombi Thembo eyita mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’abaana baabwe babiri okugwa ku kabenje.