TOP

Omusajja atakola amenya!

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

OMUSAJJA yannema lwa butayagala kukola, yandekera obuvunaanyizibwa bwonna omuli n’okusasula ennyumba mwe tusula. Nze Penlope Ntolino 27, mbeera Kawempe.Baze twasiimagana naye ng’abaagalana bonna bwe babeera, omukwano gwatandikira mu ggyiya.

Tuli 703x422

Twasalawo okubeera ffembi mu bufumbo mu maka gaffe agasangibwa e Kawempe mu Nkere Zooni mu 2016.

Omukwano gwaffe gwasooka kuba nga gweyagaza ate nga muntu mulamu wadde nga yali akola bwa D.J nga mukubi wa bidongo mu bifo ebisanyukirwamu mu Kampala.

Bwe yamala okunfunyisa olubuto, embeera ze zaatandika mpola okukyuka nga buli lwe mmunenyaako ng’ayomba kw’ogatta okunkuba.

Twatambulira mu mbeera eyo okutuusa bwe nnazaala. Baze yeyongera okundaga empisa ensiiwuufu bwe yasuulawo obuvunaanyuzibwa bwe.

Yatuusa ekiseera nga takyalina ky’ayagala kutuukiriza wadde okugula emmere.

Awaka nafuuka omwami nga buli kimu nze nkikola. Omusajja bwe yakizuula nti nkola ne nfuna ku busente, yasalawo okwesonyiwa okukola era ng’asiiba waka.

Mu kiseera ekyo nali ntembeeya ngoye z’abaana okufuna ssente.

Olumu nafunanga okusomoozebwa nga ntya landiroodi okutukasukira ebintu wabweeru nga nina okukola ennyo okulaba nga musasula ssente z’ennyumba.

Kyantwalira emyaka esatu nga nfumbira mu bugubi nga buli kiseera mbeera mu kweraliikirira miggo, ssente n’obutabeera na byetaago.

Nagenda okulaba nga mbikooye kwe kusalawo okwesonyiwa omusajja ono. Baze olwamuviira, yagezaako okuneegayirira tuddiηηane naye ne ηηana.

Yantumira ababaka omwali ne mikwano gyange naye nagaana kati myezi munaana nga twawukanye era nkola byange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...