TOP

Omuwala lwaki tayagala kwegatta?

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

SSENGA omuwala gwe njagala tayagala kwegatta nange era kati tumaze emyaka ng’etaano nga teri kwegatta.

Yita 703x422

Omuwala mulokole aηηamba nti alina kusooka kukisabira. Ssenga mpulira nga nkooye kubanga nnina omuwala omulala naye ng’alabika talina bukwakkulizo.  Ate omuwala ono bagamba nti alabika alina omusajja omulokole amwagala.  Yaηηamba n’okulokoka naye nga ndaba sikisobola ndi musajja Mukatoliki. Ssenga nnyamba ku nsonga eno. Omuwala ono alina emyaka 29. Ddala kituufu aliko embuzi? Lwaki tayagala kwegatta?

Naye okusaba okwegatta okumala emyaka etaano! Ate ono si muwala muto, mukyala lwakuba tannazaala naye muntu mukulu.

Sigaanyi abantu balina enzikiriza yaabwe era oluusi osobola okubeera n’obugumiikiriza naye nze ndaba ng’emyaka etaano kinene nnyo ku muntu omukulu.

Oba owulira olugambo nti alina omusajja omulokole ate nga ggwe wagaana okulokoka tomanya kyandiba ekituufu. Naye olina okufuna obukakafu.

Kubanga oluusi ziba ηηambo. Ekirala mwana wange oli mutuufu obutakyuka kubanga obwo obukwakkulizo si bulungi.

Abantu abasinga kye batamanyi nti okukyuka mu ddiini kiba ng’okukyusa eggwanga. Ate omuntu bw’alemera ku nsonga eno oluusi aba yeekwasa busonga naye nga takuliiko.

Sigaanyi oluusi ayinza okuba ng’akitegeeza era ng’akwagala naye bwe kiba bwe kityo oba olina kumwesonyiwa kubanga eddiini nga tezikwatagana ate nga buli omu tasobola kubeera na munne okuggyako nga waliyo akyuse olina okusalawo ekyokukola gwe ng’omuntu omukulu.

Kati mwana wange n’ekirala omuntu akwagala omumanya mu bikolwa ddala gwe olaba omukyala ono akwagala.

Ng’oggyeeko eby’eddiini era weetegereze oba alabika alinayo omusajja omulala omwesonyiwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa