TOP

Omwana omu simwekakasa!

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

TULINA abaana bataano naye ninamu gwe sitegeera. Mukyala wange bwe nkyogerako ng’akambuwala. Nagendako ebweru okunoonya ssente naye omwana ono alabika we yamufunira. Bwe mbala ennaku ndaba nga tebikwatagana. Nkoze ntya saagala kugenda mu mawulire. Naye omwana akuze era nze mulabirira. Mukwano gwange gwe nsuubira nti y’azaala omwana ono kubanga yayagala mukyala wange ne musonyiwa naye eky’omwana kindi bubi.

Smilingfamily 703x422

Gwe musajja awaka era ggwe nnannyini maka. Olina okubeera n’obuvumu okukebeza omwana ono era naawe weekebeze omanye oba obutaffaali bufaanana.

Oba waliwo engeri ey’obwenzi mu makago ate ng’olina obukakafu ku nsonga eno eky’okukebeza olina okukikola oleme kufi ira bwereere ng’olabirira omwana atali wuwo.

Ekirala olina okwebuuza lwaki yeekambuwaza oba omwana wammwe yandibadde teyeekambuwaza.

Ate obwo obusungu bw’alina tebukukanga oba yasobya era alina okuyiga nti alina okwetikka amasanga ge.

Kati mwana wange oba ggwe alina obuyinza ku mwana ono osobola okumutwala mu ddwaaliro ne bamuggyako omusaayi era oluvannyuma naawe ne bakuggyako omusaayi.

Ennaku zino ebyokugyako omusaayi byangu teweetaaga kuggyako ku mulundi gumu.

Ekikulu toyagala mwana ono kuyingira mu ntalo zammwe. Era ssinga obuulira omusawo agenda kukuyamba omwana obutamanya kigenda mu maaso.

Ssinga kizuulibwa nti omwana si wuwo oli waddembe okumubuulira era n’okwesalirawo oba omwana ogenda mu maaso omulabirire oba ogenda kusonyiwa mukyala wo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.