TOP

Nnaalongo komawo tukuze abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2018

SSAALONGO Brian Kilenzi 31, ow’e Kagoma zooni B mu Wakiso alaajana olwa Nnaalongo we okumusuulira abalongo ab’emyezi omunaana.

Ta 703x422

Kilenzi akolera mu tawuni y’e Kagoma, yagambye nti yasisinkana Suzan Nakigudde 26 emyaka musanvu egiyise era babadde bonna mu bufumbo wadde ng’abadde tagendanga waabwe kukyala na kumwanjula.

Ebbanga lye mmaze ne Nakigudde tubadde n’abaana basatu ng’abalongo be bato.

Tubadde tukwatagana bulungi ng’era tetulina buzibu bwonna.

Agamba nti embeera awaka yakyuka okuva lwe yalongoosebwa mu lubuto , omugongo gwange nagwo okukosebwa olw’emirimu gy’okusitula emigugu. Abasawo banteekako akakwakkulizo ku mirimu gye nnali nkola bwe bandagira n’okukendeeza ku mirimu gy’okukuluusana omuli n’egy’ekisenge.

Nalwawo nnyo okumatiza mukyala wange ku bubaka bw’abasawo kuba nali mwagala nnyo nga naye akyenyumirizaamu.

Twasanga akaseera akazibu ng’abafumbo kuba obwavu n’ebbula ly’omukwano byatuleetera okusomoozebwa mu maka gaffe.

Olw’okuba nalongoosebwa, n’enkola y’emirimu yakyuka n’ennyumba gye twali tubeeramu ebiseera ebyo yannemerera okusasulira.

Olunaku Nnaalongo lwe yagenda, yandeka mu ddwaaliro e Mulago nga tujjanjaba abalongo baffe Kato ne Wasswa abaali abalwadde.

Mu kiseera kino nsobeddwa kuba abaana bato bakaaba buli kiro, baagala maama waabwe ate sirina na buyambi bumala kubalabirira kuba sikyalina mulimu.

Nsaba Nnaalongo yonna gy’oli bambi okomewo tukuze abaana baffe, ate nange nkyakwagala.

Omuntu yenna alina obuyambi obw’enjawulo, nsaba anziruukirire ku nnamba y’essimu 0703326742 ndabirire abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...