TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi gwe njagala tayagala kwegatta nange!

Omukazi gwe njagala tayagala kwegatta nange!

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

OMUWALA gwe njagala tayagala kwegata nange kati tumaze emyaka nga etaano nga teri kwegatta. Omuwala Mulokole agamba nti alina kusooka kukisabira. Ssenga mpulira nga nkooye kubanga nnina omuwala omulala naye ng’alabika talina bukwakkulizo. Ate omuwala ono baηηamba nti alabika alina omusajja Omulokole amwagala. Yaηηamba n’okulokoka naye nga ndaba sikisobola kuba ndi Mukatuliki. Ssenga nnyamba ku nsonga eno. Omuwala wa myaka 20, ddala kituufu ayinza okuba n’embuzi?

Ssenga1 703x422

OKUSABIRA okwegatta okumala emyaka etaano. Ate ono si muwala muto mukyala lwakuba tannazaala naye muntu mukulu.

Sigaanyi abantu balina enzikiriza yaabwe era oluusi osobola okubeera n’obugumiinkiriza naye ndaba ng’emyaka etaano kinene ku muntu omukulu.

Oba owulira olugambo nti alina omusajja Omulokole ate nga ggwe wagaana okulokoka, tomanya kyandiba ekituufu naye olina okufuna obukakafu.

Oluusi zibeera ηηambo. Ekirala oli mutuufu obutakyuka kuba obwo obukwakkulizo si bulungi.

Abantu abamu tebakimanyi nti okukyuka mu ddiini kuba nga kukyusa mu ggwanga. Ate omuntu bw’alemera ku nsonga eno oluusi aba yeekwasa naye nga takuliiko.

Sigaanyi oluusi ayinza okuba ng’akitegeeza era ng’akwagala naye bwe kiba bwe kityo oba olina kumwesonyiwe kubanga eddiini nga tezikwatagana olina okusalawo eky’okukola gwe ng’omuntu omukulu.

N’ekirala omuntu akwagala omumanya mu bikolwa. Ng’oggyeko eddiini, weetegereze oba alabika alinayo omusajja omulala nga gwe yakwesonyiwa naye nga takubuulira kituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...