TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebintu ebitono ebinyiiza abaagalana

Biibino ebintu ebitono ebinyiiza abaagalana

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ABAYIMBI Judith Babirye ne Rema Namakula baayimba ku buntu obutono obunyweza omukwano. Bino biri mu nneeyisa gamba nga okukubira munno ku ssimu, okutona obulabo n’ebirala ebiraga munno nti omufaako.

Gaana 703x422

Bano abavubuka ab’omukwano baasangiddwa nga banyumirwa bulamu mu kimu ku bifo ebisanyukirwamu mu Kampala.

Wabula buno oyinza okubukola, wabula ssinga ate tofaayo kwewala obuntu obutono bw’olaba ng’obwokusaagasaaga ate munno ayinza okukunyiigira, so ate ayinza obutakugamba, era naawe n’otomanya.

Mu mukwano buli omu asuubirwa okufaayo ku bulamu bwa munne naddala okukakasa nti ali mu ssanyu. Era bw’oba ofaayo omanya mangu munno bw’abaako ebimunyiizizza n’ofaayo okukyusaamu.

Naye abamu ensonga eno tebagitwala nga nkulu. Kwe kukola byonna by’asanze mu maaso ga munne nga tafaayo oba binaamuyisa bubi. Maria Namagembe ow’e Kasubi ye agamba nti munne amunyiiza kuwuunira ku ssimu ng’ali awaka.

Oluusi ajula okumugamba afulume wabweru ayogere bulungi okusinga okuwuunira mu maaso ge. komawo waka ng’ayogera ku ssimu, olwo ne yeetooloola ennyumba ng’ayogera Juliet Nakiwomya ow’e Sekanyonyi, yagambye nti abaagalana obutassaayo mutima ku bintu ebiri ku bannaabwe ye kazaalabulwa.

Buli lw’otofa ku munno, kiraga nti kijja kukuzibuwalira okumanya ebizibu bye n’ebyo ebimusanyusa. Ebimu ku bintu ebirabika ng’ebitono naye nga binyiiza mulimu;

1 Okukyusa ttivvi nga munno alaba n’ossako ebibyo. Kino tekyandibadde kibi, ssinga musooka kukyogerako, wabula okusanga munno ng’alina by’alaba n’okwata limooti n’ossa mu ggwe by’oyagala okulaba tekiba kirungi, era bw’oba okikola buli kiseera, munno ajja kwetamwa.

2 Okusembeza ennyo emikwano n’otuuka n’okubayita nga mulina gye mugenze okwewaamu. Kino kimalako emirembe era ssinga okiyitiriza munno ayinza okusalawo ebyokwewaamu mubiveeko.

3 Okwerabira ennaku munno z’asinga okussaamu ekitiibwa. Abakyala batera okufaayo okujjukira ennaku enkulu mu bulamu bw’abaagalwa baabwe omuli olw’amazaalibwa n’endala era batera n’okufaayo okubatonera. Wabula bino abasajja bangi babyerabira oluusi ekinyiiza bakyala baabwe.

4 Okuwaanira munno abantu ab’amannya naddala bassereebu. Kino oyinza okukiraba ng’ekitaliimu naye nga kinyiiza. Waliwo abawaanira bannaabwe bassereebu nga bwe banyirira, eddoboozi, ennyambala ffi ga ne kalonda omulala. Kino bw’okiyitiriza munno atuuka ne yeetamwa n’akunyiigira, naddala ng’omuntu oyo omu gw’omuwaanira buli kiseera. Ate bwe kituuka ku bassereebu b’oku ttivvi ne kiyitirira, anti buli lw’amulabako olwo nga ttivvi tajja kugivaako okutuusa nga pulogulaamu ewedde. Olwo munne n’awulira nga ssereebu oyo amutamye.

5 Okusuubiza n’ototuukiriza. Teri ayagala oba anyumirwa bisuubizo bitatuukirira. Kino kimalawo obwesige munno bw’aba nabwo gy’oli. Ky’ova olaba abamu bagamba nti, ‘waakiri neesiga, okusinga okunjagala’, kubanga obwesigwa bwe buggwaawo kizibu okubuzzaawo.

6 Okulwawo okuddamu oba okukwata essimu ya munno. Buli omu alina gw’ayagala yandyetaaze okumuwulizaako, noolwekyo kikyamu obutakwata ssimu mu bugenderevu, oba okulwawo okuddamu obubaka obuvudde eri omwagalwa wo naddala ng’akitegedde nti obulabye. Bw’omanya nti ogenda kuba bbize oba ekifo ky’olimu oyinza okulemwa okukwata essimu, kimugambe akimanye.

7 Okugeraageranya munno ku be wakyawagana nabo. Tewali nsonga lwaki ate munno otandika okumugeraageranya n’abantu be wayawukana nabo ate n’obimugamba. Kino kimulaga nti wandikola akaddannyuma n’odda gye wava.

8 Okweyisa ekito. Kino abamu tebakimanyi nti kinyiiza. Wadde omukwano gwetaagamu eby’ekito omuli okuzannya kuba byongera ebirungo n’ebbugumu mu mukwano. Wabula abaagalana abamu basaaga oba bateeka omuzannyo mu mukwano ne basukka we bandikomye ne mu nsonga awateetaagisa kusaaga, noolwekyo kiba kya bugunjufu okusaagasaaga ne kubaako we kukoma ate ne kutayingira mu nsonga eziri siriyaasi nga kino kivaako munno okukulaba ng’omwana omuto ekiyinza okumunyiiza.

9 Okubiita abantu abalala mu maaso ga munno. Kino kitera kubeera ku basajja, naddala ng’alina muganzi we oba mukazi we, wabula n’atandika okusuusuuta mikwano gya mukazi we oba muganzi we omuwala nga ne munne amulaba. Kino kimalako emirembe era kinyiiza.

10 Okutumiza munno ebyokulya oba ebyokunywa nga tosoose kumwebuuzaako. Kituufu abamu baba bamanyi bannaabwe bye baagala, naye kirungi n’omuwa omukisa okwetumiza, oba waakiri n’akusaba omutumize.

11 Okunyumya emboozi z’omukwano gwammwe ogw’omu buliri eri emikwano gyammwe. Ne bw’oba omuwaana kijja kumuyisa bubi kubanga ebyammwe ababiri biteekwa kusigala nga byammwe mwekka.

12 Okumala obudde obunji ku ssimu. Omuntu ayagala munne yeetaaga okumuwa obudde bwe n’ebirowoozo. Okubeera ku ssimu ng’oli ne munno kimulaga nti tomwetaaga.

Nakiwomya yagambye nti; ekikulembera okwewala ebintu ebyo byonna abafumbo balina okusooka okumanya nti okuwaηηana ekitiibwa kintu kikulu, kuba bwe wabaawo buli omu okuwa munne ekitiibwa byonna bino mu kwogera ne mu kukola tebisobola kubaawo.

“Bw’oba ne munno tewali nsonga lwaki oba owankawanka n’otuuka n’okuwaana omulala mu maaso ge.

Nze bw’oba weegombye omuntu omulala kuba kya butonde naye ate si kya bugunjufu okukiraga munno.

Abafumbo bonna amagezi ge mbawa mwewale omuze gw’obutamatira n’okwefaako. Kuba buli lw’okola ekintu nga tofaayo gyali kyangu okukola ekimulumya kuba tofaayo ku ngeri gyanaawuliramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...