TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Jjangu obanguke mu nkwata ya ssente mu maka

Jjangu obanguke mu nkwata ya ssente mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ENNAKU zino amaka mangi galina obuzibu mu nfuna naye nga tebafuna budde kwetegereza lwaki enfuna ntono, lwaki ensaasaanya yeeyongera ate tebafuna magezi kulaba ng’enfuna yeeyongera. Buli musajja oba mukyala omufumbo ayagala obufumbo nga mulimu ku kasente.

Yiha 703x422

Abamu ku beetaba mu musomo gwa Ssenga omwaka oguwedde ku Freedom City e Namasuba.

Kubanga mu butuufu obufumbo tebunyuma nga muli baavu nnyo. Ssinga otunuulira abagagga abasinga balina kye bafaanana.

Bakozi ddala, bamalirivu, bagumiikiriza, balemera ku nsonga, balina emikwano egibayamba okutuuka webali ate era tebamala gasaasaanya ssente ze bafuna.

Naye abantu abasinga abalina endowooza nti waliyo abantu abazaalibwa nga bagagga, abo gyebali naye nabo basobola okwavuwala ssinga ssente tebazikozesa bulungi. Era waliyo abagamba nti waliyo omusaayi nga mufunyi.

Bw’okulira mu maka nga bakozi nga balina ebisaanyizo ebyo waggulu era ng’olina omutima ogutoola era weesanga ng’obikwata era naawe weesanga ng’ofuuse mufunyi.

Mu maka naddala ennaku zino omukyala n’omusajja mulina obuvunaanyizibwa okulaba ng’ebyenfuna obifaako.

Sigaanyi obuvunaanyizibwa okusinga bubeera ku musajja naye nga buli abeera mu maka ago alina okulaba ng’avunaanyizibwa.

Okusookera ddala, katwogere ku bubonero obulaga nti ebyefuna si birungi mu maka gammwe era nga mwolekedde obwavu. Amaka mangi mu Uganda galina obubonero buno naye nga tekitegeeza nti mulina kusigala mu mbeera eno. Ebiyamba amaka okubeera mu byenfuna ebirungi mulimu;

Okubeera n’embalirira.: Wadde ekintu kino amaka mangi gakibuusa amaaso, okubeera n’embalirira kiyamba nnyo amaka okukulaakulana. Embalirira eno ebategeka okumanya ssente ze mwetaaga buli mwezi era n’engeri gye mugenda okuzisaasaanya.

Mulina okubalirira ebintu nga emmere, amasannyalaze oba amafuta g’ettaala, obujjanjabi, okusomesa baana n’ebirala.

Olwo bwe mubeera abakozi bwe mufuna ssente muzisaasaanya mu bintu bino era ezifi kkawo ziyingira mu nsawo enzibizi ey’okutereka. Nga bw’okola bizinensi, era n’amaka olina okugakolera embalirira. Ate kya magezi mutuule ne munno okukola embalirira eno.

Eno ebayamba n’okumanya we muyitiriza okufulumya ssente era n’okwebuuza lwaki ssente zifulumye. Bwe mutabeera na mbalirira ssente zifuluma mu maka nga temutegedde. Era oyinza n’obutamanya nti mwetaaga okusala amagezi okulaba ng’ennyingiza yeeyongera.

Embalirira eno erina kukolebwa buli mwaka nga muteekamu ne pulojekiti ze mugenda okukola ng’amaka. Katugambe ng’okuzimba ennyumba n’ebirala. Obutabeera na mbalirira kibasiba mu bwavu kubanga temumanya gye mulaga era temumanya gye muva.

Emmere n’ebikozesebwa awaka: Abantu abasinga tebakimanyi nti buli lw’otabeera na nnimiro w’oggya emmere ey’okulya oba oyolekedde obwavu. Emmere ey’okugula buli lunaku etwala ssente nnyingi era eyingira mu nsawo y’amaka.

Abantu bangi balina ettaka naye tebalima. Ne bw’obeera n’ettaka nga liri wala lima otunde emmere eyo ogule emmere mu kibuga oba gendayo oleete emmere gye munaalya awaka.

Amaka agasinga galya akawunga naye nga tebafaayo kulima kasooli. Ennaku zino osobola n’okupangisa ettaka n’olima. Waliyo abantu bangi abalina ettaka naye nga tebalikolerako.

Omukyala edda yalinanga obuvunaanyizibwa okulima okulaba ng’amaka tegabulamu mmere. Naye nga tolina mbalirira ya mmere weesanga ng’osaasaanya ssente nnyingi ku mmere.

Nga mufunye ssente mugule emmere enkalu ebeere mu maka ng’akawunga, omuceere, ebijanjaalo, n’ebintu ebikozesebwa nga ssabbuuni, omunnyo ne ssukaali.

Okusomesa abaana: Abazadde bangi basomeseza abaana mu masomero ag’ebbeeyi ennene. Naye ekizibu nti abazadde tebatwala budde kwetegereza oba ddala banaazisobola.

Abazadde bangi ennaku zino batwala abaana mu masomero ag’essente ennyingi nga tebazisobola, ekivaamu kuzeewola.

Lwaki tobatwala mu masomero g’osobola, okusinga okwewola? Ebirala birinde wiiki ejja, era bijja kwongera okusomesebwa mu musomo gwa SSenga okutegekeddwa ku Freedom City e Namasuba ku Lwomukaaga nga September 29, okuyingira kwa 10,000/-.

Emiryango giggulwako ku saawa 5:00 ez’oku makya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanawomufulemukwanogwowebuse 220x290

Emize gy’abaana egimu giva ku bazadde...

Ebintu bingi ebikolebwa abaana biva ku bazadde kyokka ensobi ne bazibassaako bokka olwo ne bakuba emiggo ekivaamu...

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....