TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Eyazaalibwa nga talina busajja bamupanze n'adda engulu: Kati asaza kimu, awasizza n'embooko

Eyazaalibwa nga talina busajja bamupanze n'adda engulu: Kati asaza kimu, awasizza n'embooko

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

OMUSAJJA eyazaalibwa nga talina busajja abakugu bamulongosezza ne bamussaako obukolerere era ajjuze okufa essanyu bw’atandise ‘’okulya ebintu’’ ku myaka 45!.

Untitled1 703x422

Fedra Fabian ne kabiite we Andrew Wardle, gwe baazaala nga talina busajja

 ‘’Njula okufa essanyu!. Nateredde kati nsaza kimu. Era ebintu nakoze ne muganzi wange Freda ne bitambula bukwakku,’’ Andrew Wardle ow’omu kibuga  Machester ekya Bungereza bwe yategeezezza kyokka nga tebyamubeeredde byangu.

Okumulongoosa afune obusajja kyatwalidde abakugu essaawa kkumi ng’ate ye kyamuwemmenseeko pawundi za  Bungereza 50,000 (eza Uganda bukadde nga 250), okusinziira ku lupapula lwa Daily Mail e Bungereza.             

Okumulongoosa kwamukoleddwaako mu ddwaliro lya University Hospital e London.

Baamulongoosa mu June ne bamuwa ebbanga okuwona obulungi era olwawonye n’alumba muganzi we alina emyaka 28 Fedra, okuva mu kibuga  Budapest ekya  Hungary ne beerige mu kigwo Ekiganda. Era ne Freda yagambye nti ebintu byatambudde bulungi ne banyumirwa okufa nga toyinza na kumanya!........

Omusajja ono alunyumya nti ayise mu bulumi bungi olw’embeera  gye yazaalibwaamu. Nnyina kamuzaala eyali nnakyeyombekedde yamusuulawo n’adduka era yakuzibwa bazirakisa.

Yagezaako okwetta olw’embeera eno ne bigaana  n’atandika kwenyweera bitamiiza omuli omwenge n’enjaga obutalowooza ku mbeera gy’alimu.             

Olw’okuba yabeeranga yekka abawala baamulemerako nga bw’abatwala mu kisenge afuna ebintu bye yeekwasa ng’okuba omukoowu, okuba omutamiivu ennyo n’okuba ng’akyalaba firimu.

‘’Lumu omukazi n’amukuba ekikonde mu maaso ng’agamba mwesiruwalizaako. Nalumwa nnyo naye n’anneetondera,’’ Andrew bw’anyumya. 

Agamba nti abadde abuzaabuza ‘enfa ye’  ng’agenda mu bibuga abantu gye batamumanyi obulamu n’abuliira eyo .

Andrew annyonnyola nti wadde yagezaako okwetta enfunda eziwera ne bigaana, yaguma okuva lwe yagenda mu ggwanga lya Thailand n’asanga omukazi eyali asula ku nguudo nga musanyufu.

‘’Nagamba nti ono atalina wasula ne w’abeera musanyufu, lwaki nze siba,’’ bwe yannyonnyodde. Kyokka essanyu lyeyongedde abasawo bwe bamukozeeko  n’alamuka.

Omusawo amanyiddwa nga  Hood ye yasooka okumulongoosa akawago  n’amukwasa munne  Dr. David Ralph n’amussaako obusajja. 

Eby’okutandika okumusaako obusajja byatandika mu November 2015 era baamusalako obunyama mu bitundu ebitali bimu ne ku mukono  ne batandika okubuyunga okutandikira ku mubiri okutuusa ebintu bwe byateredde.             

Yagambye nti ebikovukovu ebyamussiddwa ku mubiri gwe nga bamusalako obunyama tebimutiisa ajja kubisaako ‘tatoo’ abibuzeebuze.  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...