TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnamukwata lubona n’omusajja ne mwesonyiwa

Nnamukwata lubona n’omusajja ne mwesonyiwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2018

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa. Naye ate kati ndaba nga talina mirembe mu maka. Tasobola kunyumya mboozi nange. Bwe ntuuka awaka nga mu ddiiro avaawo ng’andekawo n’abaana. Yeebaka wansi nze mu kitanda nsulamu nzekka. Ssenga nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

Namusonyiwa kubanga mukyala mukozi, muyonjo ate tuyise mu bintu bingi. Mpozzi nange amaanyi ageegatta sigalina.

Weebale kumusonyiwa kubanga embeera eyo nzibu ku bakyala bangi era n’abasajja bangi.

Bazadde baffe baalinanga omutima bwe gutyo ng’omwana ayinza okuzaalibwa mu maka naye nga si wa nnyinimu naye ng’okukuuma ekitiibwa ky’amaka omusajja yasalangawo okusirika.

Newankubadde wasonyiwa omukyala ono alabika teyakisuubira nti ogenda kumusonyiwa.

Kati mukazi wattu naye alina ebimunyiga mu mutima, era alabika ali mu ssaawa ya kwejjusa.

Jjukira ogambye nti muyise mu bingi n’omukyala ono. Yeebuuza lwaki yakikola, akimanyi nti obwesigwa gy’ali bwakendeera, n’ekirala tamanyi oba ddala wamusonyiwa.

Omukyala ono naye yeetaaga okulaba omukugu amuyambe mu mbeera gy’alimu.

Kubanga si kyangu munno gwe mubadde mutambula naye obulungi ate n’akola ekyo kye yakola.

Gwe obutabeera na manyi ga kisajja kitegeerekeka kubanga wadde wamusonyiwa naye omutima gw’okwegatta naye gwafa. Era naawe weetaaga okwogerako n’omuntu anaakuyamba ku nsonga eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai