TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebbaluwa ya Ssenga: Lwaki toyagala kwegatta?

Ebbaluwa ya Ssenga: Lwaki toyagala kwegatta?

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2018

OMWAMI waffe yankyaliddeko n‛ambulira ebigambo ebitansanyusizza. Nti ennaku zino toyagala kwegatta naye ebiseera ebisinga owoza nti oli mukoowu.

Ssenga1 703x422

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza oba omulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka lye yatandika alikuggyeko obeere awaka.

Anti n‛omwana tokyamufaako era bw‛okomawo tofaayo kumanya bwe yasiibye.

Mwana wange nsuubira nti omwami waffe okukukkiriza okukola yali ayagala naawe ofune ku kasente akako. Era ng‛ayagala ennyingiza mu nnyumba yeeyongere.

Naye kati ate bw‛otandika okwerabira obuvunaanyizibwa bw‛amaka omusajja yenna kimuyisa bubi.

Kati mwana wange ate obukoowu obuggya wa? Kubanga mu dduuka otuula butuuzi ate nga bwe wasiibanga awaka ng‛okola emirimu mingi naye nga munno omusanyusa bulungi. Kati ate mu kutuula ogamba nti okooye.

Ate mwana wange kirabika bubi omwami okukusooka awaka. Olina okugezaako okulaba ng‛omusooka awaka omutegekere agende okutuuka nga buli kimu kiri bulungi.

Kino tekitegeeza nti buli kintu gwe olina okukikola, naye olina okulambula omukozi by‛akoze okulaba nga ddala gwe mutindo munno gw‛alina okukuuma mu mmere n‛ebirala. Ate ebimu olina okubyekolera ng‛omukyala awaka.

Kati omwami waffe agamba nti ayagala oddeyo obeere awaka kubanga eby‛awaka wabyerabira.

Mwana wange olina okukyusamu ku mbeera, kubanga omwami waffe si musanyufu n‛akamu.

Ate eky‛omwana nakyo kikulu, oyinza otya okwerabira omwanawo? Okukola tekitegeeza kwerabira zadde.

Mwana wange obuzibu bw‛okukola mbulabye mu bakyala ab‛amaanyi abeerabira obuvunaanyizibwa.

Kyusaamu ofune obufumbo obw‛emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai