TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe nnazaala omwana atalina w'afulumira baze n'anzirukako

Bwe nnazaala omwana atalina w'afulumira baze n'anzirukako

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

OMUSAJJA bwe yalaba ng’anzadde omwana atalina w’afulumira n'anzirukako.

Restynakawuka1 703x422

Nze Resty Nakawuka,39,mbeera Kimazzi Luwero,mbadde mmaze emyaka esatu nga mbeera ne taata w’abaana bange era twasooka ne tuzaalayo omwana omuwala naye naafa.

Twasigala tubeera ffembi era bwewayitawo ebbanga nenfuna olubuto olulala era nenzaala omwana muwala taata we n’amutuuma Margaret Namwanga.

Omwana ono namuzaalira ku kiriniki naye nga talina wafulumira ,amangu ago abasawo bansindikirawo e Mulago era bweyaweza ennaku ssatu ne bamulongoosa olubuto nafuna ekituli w’afulumira.

Olwava mu ddwaliro n’agenda okuddayo awaka ng’omusajja yasituddemu ebintu bye n’agenda bwenagezaako okumukubira essimu yangamba kimu nti omwana mufunire taata we ye tazaala baana bwebatyo.

Kati omwana awezezza emyezi mukaaga naye bulijjo azannya bulungi ng’ampa ne waazi n’engeda mpakasa okusobola okufuna ssente z’enyumba n’okulya, omwezi oguwedde omwana yatabuka n’azira amabeere era bweyakaaba ennyo ekyenda n’ekisowokayo webaali baasala.

Nadduka ne mmuzaayo e Mulago abasawo ne baddamu ne bazzaayo ekyenda naye ayina obulumi bungi era abeera akaaba kati kyazzeemu ne kivaayo bwennamuzizzaayo mu ddwaliro abasawo bangambye nnoonye ssente ezinagulanga eddala n’ebyetaago nzireyo bamulongoose kuba ajakulwayo.

Essaawa zino nnannyini nyumba yagingobamu era kati waliwo omukyala ansuza kyokka kati sikyasobola nakupakasa kuba omwana asiiba akaaba ate asula akaaba talina kyayagala kulya ate nga n’amabeere yagazira kyokka ne nnazaala wange talina ssente kunyambako.

Kati nnoonya bazira kisa banyambeko okunsondera ku ssente ezinanyambako mu ddwaliro kuba omwana wange ali mu bulumi ate nga sirina wakutandikira.Anaaba asobodde okunyamba ndi 0781094595ENDS

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi...

Mao atabuse ne Muwanga Kivumbi lwa kumugaana

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti