TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Olwazaala abaana 3 omusajja n’adduka

Olwazaala abaana 3 omusajja n’adduka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

ABASAJJA bantabula, kirabika bongedde okutya obuvunaanyizibwa oba okusoomoozebwa kwe basanga mu bulamu!

Ying 703x422

Amannya nze Catherine Nawesa 26, nga mbeera Lubugumu mu Ggombolola y’e Namayiba e Mukono.

Ennaku ennuma olw’omusajja okunzirukako bwe nazaala abaana basatu omulundi gumu.

Ekibi yagenda tandaze na waabwe kati sirina gye nnyinza kuddukira kufuna buyambi kuba kirabika yatya okutunoonyeza ky’atuliisa.

Twalabana ne taata w’abaana Steven ng’akima mazzi n’agatunda mu bantu era yafunanga ssente ezisobola okutubeezaawo kyokka bwe nazaala n’abulawo.

Twali tubeera Kireka nga we tupangisa ne nfuna olubuto wakati mu kunjagala n’okunsuuta. Okuzaala bwe kwatuuka bannongoosaamu abaana basatu.

Omusajja yasooka n’abeerawo naye abaana bwe baaweza emyezi ena n’adduka.

Yang’amba nti ewaabwe Bukedea naye yali tantwalangayo naye alina omuwala gwe yandaga nti mwannyina.

Omuwala yajja naye awaka ng’ayambadde yunifoomu y’essomero kyokka sikakasa oba ddala mwanyina ate naye siddangamu kumulaba okuva olwo.

Kati landiroodi ammanja ssente z’ennyumba, abaana balwala tebalina buyambi ate nga n’ekyokulya kibula.

Olumu nfuna obulimu ne nkolako kyokka mba naakatandika okukola oba oli awo ng’omwana omu alwadde ate olwo ssente nga zigenda.

Ndi mu mabanja olw’abaana bange kubanga mbaagala era njagala babeere bulungi.

Omusajja eky’okudduka kyandibadde awo naye singa mmanyi gye bamuzaala osanga nandikwataganye n’abooluganda lwe .

Nalowooza okudda waffe mu kyalo e Mbale naye nayo sijja kufunayo buyambi kubanga taata awoomerwa nnyo omwenge so nga maama takola era tasobola kundabirira.

Abaana balina okulya , okunywa kyokka kati ebintu bya bbeeyi. Asobola okumpa obuyambi abayise ku ssimu 0788549583.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...

Kccawinssupercup 220x290

KCCA emezza Vipers n'esitukira...

Mike Mutebi yagambye nti sizoni eno alina essuubi ly'okukumba ebikopo byonna.

Seminti5 220x290

Mmotoka ya seminti endala etomedde...

LOOLE ya seminti endala eyingiridde ey'omusenyu ku luguudo lw'e Masaka ddereeva waayo n'afiiriwo ate abalala 5...