TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwegatta ayagala nsooke kumutegeeza

Okwegatta ayagala nsooke kumutegeeza

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

Ssenga mukyala wange bwe tuba tugenda mu nsoga z’okwegatta antegeeza nti musabeko. Mu butuufu sirina bigambo bye nkozesa okutumutegeeza.

Ssenga1 703x422

Mumpe ku magezi ku bigambo ebituufu. Mwana wange ono omukyala muvumu era weesimye naye.

Mu butuufu abasajja abasinga tebamanyi nti newankubadde baagala okwegatta omukyala yenna olina okumusaba ng’oyagala okwegatta naaye. Ate okumusaba tekyetaagisa kufulumya bigambo.

Oyinza okukozesa ebikolwa ebiraga nti oyagala okwegatta ng’okunoonya munno n’ebirala ng’ebyo.

Ate bw’onoonya munno era musabe anti abakyala abamu baagala okuwulira ebigambo.

Mwana wange sigenda kukubuulira ngeri gy’osaba kusaba kubanga gwe asinga okumanya munno oba ayagala okukozesa Olungereza, Oluganda oba olulimi olulala. N’ekirala era gwe amanyi ebigambo ebimusanyusa mu matu.

Gezaako okunyumya naye omanyire ddala ebigambo ebituufu ebimusanyusa. Bw’onomutegeera ky’ayagala mujja kunyumirwa obulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda