TOP

Lwaki toyagala kwegatta?

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2018

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka lye yatandika alikuggyeko obeere awaka. Anti n‛omwana tokyamufaako era bw‛okomawo tofaayo kumanya bwe yasiibye.

Newsengalogob 703x422

OMWAMI waffe yankyaliddeko n‛ambulira ebigambo ebitansanyusizza. Nti ennaku
zino toyagala kwegatta naye ebiseera ebisinga owoza nti oli mukoowu.
 
Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese 
embeera eno. Kati alowooza edduuka lye yatandika alikuggyeko obeere awaka. Anti n‛omwana tokyamufaako era bw‛okomawo tofaayo kumanya bwe yasiibye.
 
Mwana wange nsuubira nti omwami waffe okukukkiriza okukola yali ayagala naawe
ofune ku kasente akako. Era ng‛ayagala ennyingiza mu nnyumba yeeyongere.
Naye kati ate bw‛otandika okwerabira obuvunaanyizibwa bw‛amaka omusajja yenna
kimuyisa bubi.
 
Kati mwana wange ate obukoowu obuggya wa? Kubanga mu dduuka otuula butuuzi ate nga bwe wasiibanga awaka ng‛okola emirimu mingi naye nga munno omusanyusa bulungi.
 
Kati ate mu kutuula ogamba nti okooye. Ate mwana wange kirabika bubi omwami okukusooka awaka. Olina okugezaako okulaba ng‛omusooka awaka omutegekere agende okutuuka nga buli kimu kiri bulungi.
 
Kino tekitegeeza nti buli kintu gwe olina okukikola, naye olina okulambula omukozi
by‛akoze okulaba nga ddala gwe mutindo munno gw‛alina okukuuma mu mmere n‛ebirala.
 
Ate ebimu olina okubyekolera ng‛omukyala awaka. Kati omwami waffe agamba nti ayagala oddeyo obeere awaka kubanga eby‛awaka wabyerabira.
 
Mwana wange olina okukyusamu ku mbeera, kubanga omwami waffe si musanyufu
n‛akamu. Ate eky‛omwana nakyo kikulu, oyinza otya okwerabira omwanawo?
Okukola tekitegeeza kwerabira zadde.
 
Mwana wange obuzibu bw‛okukola mbulabye mu bakyala ab‛amaanyi abeerabira obuvunaanyizibwa. Kyusaamu ofune obufumbo obw‛emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...