TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okukyala kw’ennaku zino engeri gye kulemesezza abasajja okuwasa

Okukyala kw’ennaku zino engeri gye kulemesezza abasajja okuwasa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2018

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

GEORGE Semakalu Balyangule (si ge mannya ge) ali mu kattu. Alina omuwala gw’aludde nga baagalana era ng’omuwala oluusi abeera wuwe. 

Gye buvuddeko kabiite we ono yamusabye bakyaleko ewa ssenga era balowooze ku ky’okutongoza obufumbo bwabwe. Kino Semakalu yakikkirizza, wabula akattu k’alimu ze ssente obutawera. 

Agamba nti yaakasondawo akakadde kamu n’ekitundu z’alaba nti tezijja kumumala.

Wiikendi ewedde Semakalu yawerekedde ku mukwano gwe ne bakyala.

 

Ono yatutte ebintu bingi omwabadde firiigi, ttivvi, obusawo bw’omuceere, obwa ssukaali ne kalonda omulala. Bino byakanze Semakalu era n’okukyala n’akwongezaayo.

 

Abasajja n’abavubuka bangi abandyagadde okuva mu buwuulu oba okutandika ku byetaagisa okutongoza obufumbo bwabwe wabula ne balemwa olw’embeera eriwo.

 

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema. Nnaalongo Esther Kawadwa 50 ew’e Maganjo yagambye nti okukyala kwe kwayitibwanga ‘Okutta ekyama.’ 

 

“Omuwala bwe yasiimanga munne yeesituliranga omulenzi oyo n’amutwala ewa ssengawe n’atta ekyama ekibadde ekikye yekka n’akibuulirako ssengawe. Olwo ssenga yasookanga

ne yeekeenneenya omusajja oyo bwe yamukakasanga ng’akulemberamu omulimu

gw’okutembeeta ensonga okugitwala ewa taata era taata bw’asiima ng’amuwa olukusa

ensonga okujanja mu lujjudde ku mukolo gw’okwanjula.

 

Kino kyabangawo oluvannyuma lw’okusala ebintu by’ayagala (naddala omutwalo). Ky’ova olaba ku kwanjula ssenga gwe bayita okwanja ensonga ne bamubuuza oba ddala abantu

abeekakasa. 

 

Okukyala ewa ssenga kwabeeranga munda mu nnyumba, era ebintu ebyatwalibwanga byabanga bitono ddala. Baateranga kukyala kawungeezi, era ssenga yasinganga kutegeka kacaayi. Wabula ebbaasa ya ssenga yabanga erina okubaako ng’eno mwe mwassibwanga

ssente ezinaagenda ew’abazadde b’omuwala okwanja ensonga.

 

EKIRIWO KATI

Ensangi zino, omuvubuka oba omusajja anaakyala alina kwesiba bbiri. Abawala abamu tebakyayagala kukyaza baami baabwe mu bassenga, babatwala butereevu mu maka ga bazadde baabwe.

 

Eno yandiba nga y’ensonga lwaki omusajja abeera ateekeddwa okutwala ebintu ebiwera. Ekirala abawerekera ku musajja agenda okukyala nabo baafuuse bangi ddala.

 

Era amaka agamu babateera ne weema wabweru, olwo omukolo ne gukirako ogw’okwanjula. Batwala ebintu ebiwera omuli n’engoye, era bafuna n’aboogezi

ku njuyi zombi abatambuza omukolo.

 

Ku ludda lw’omuwala, naye ayita abantu bangi ddala era n’engoye z’akyusa ziwerera ddala

okufaananako ayanjudde. Kuno kw’ogatta okusala kkeeki ne kalonda omulala yenna akolebwa mu kwanjula. 

 

Kawadwa yagasseeko nti olw’okuba okukyala kukyusiddwa nnyo, abasajja abamu bw’akyala

ewaabwe w’omuwala olwo ng’ebyokwanjula abivaako, kuba aba amanyi nti abantu b’omuwala bonna bamutegedde.

 

So nga luli bw’akyala ewa ssenga yekka y’aba amumanyi era muli asigala awulira alina ebbanja ly’okutuukiriza okwanjula.

 

Ne ssenga aba tawulira bbanja lyonna kusaba musajja kutuukiriza kwanjula kuba aba akimanyi nti ne bazadde b’omuwala omusajja bamumanyi.

 

ENGERI OKUKYALA GYE KUKYUSEEMU

John Konde omwogezi w’oku mikoko yagambye nti ebintu bingi bifutyankiddwa ate ng’ababikola balowooza nti bye bituufu.

 

Ebintu ebitwalibwa;

Okukyala tekutegeeza nti omulenzi akkiriziddwa okutwala omuwala, wabula kwabanga kuyita mu kasengejja.

Era ssenga oba abazadde basobola okugaana omulenzi naye n’atasalwa kuba aba talina ky’ataddeyo. Naye ab’ennaku zino, basituka lumu n’ebintu nga taata oba ssenga tebalina bwe babibagobesa ne bwe baba balina kye batasiimye ku mulenzi. Ate n’ebintu bye baleeta biba nga byakwanjula.

 

Okufulumya omukolo ebweru;

Omukolo gw’okukyala gwabanga gwa kyama era nga kivve okugufulumya ebweru. Amakulu mu kino mwalimu okwewala okuswala ssinga wabaawo enkyukakyuka, okugeza ssinga omuwala yabanga aleese omuvubuka bwe beddira ogumu oba eyeddira ogwa nnyina byakomanga awo.

 

Ebifo ebikyalibwamu;

Ennaku zino abalenzi babatwala mu bazadde baabwe butereevu nga tebasoose kubayisa mu mitendera mituufu. Abalala bamanyi n’okubakyaza mu bakulu baabwe.

 

Okupangisa bassenga;

Olwokuba omulembe gwa Dot.com, abawala abamu balekawo bassenga baabwe abatuufu

olw’obutaba na busobozi n’endabika ne bapangisa abanaanyumira omukolo.

Bano oluusi babatuusiza ddala ne ku mukolo gw’okwanjula, olwo ssenga omutuufu n’ayambala gomesi, ate omupangise n’atambuza omukolo.

 

EBIZIBU EBIVUDDE MU KUKYALA KW’ENNAKU ZINO

Olw’okuba abawala bayingira obufumbo nga tebasoose kwebuuza, oba ababa beebuuzizza nga beebuuzizza ku bassenga abapangise, oluusi ensonga tezitambula

bulungi, kuba omuwala aba taluηηamiziddwa bulungi.

 

 Abavubuka okutya okukyala.

Okulyala ennaku zino kwetaaga ssente eziwerako. Omuvubuka bw’agenda okubalamu nga tayitawo, olwo ng’abisazaamu. Kino oluusi kiyinza okumulemesa okuwasa ng’atya okumuyisaamu amaaso.

 

Abavubuka obutakola kwanjula.

Olw’ebintu ebitwal kukyala, abavubuka abamu bakitwala nti byonna biwedde. Bazadde b’omuwala bakanda kulinda abaalagaanya okudda nga tebalabikako, olwo ng’omuvubuka abiviirako ddala. Ennaku zino omuwala bw’akyaza omulenzi ewaabwe ng’olwo atandika bufumbo na kuzaala baana.

 

Abavubuka obutalabikako ku kwanjula.

Olw’okuba okukyala abavubuka batwala ebintu eby’ebbeeyi, kirowoozesa abazadde

nti muwala waabwe afunye omugagga. Kati omuvubuka bw’aba akyeyiiya, ayinza okukkiriza omuwala n’atekega okwanjula, wabula n’atalinnyayo olw’obutaba na bye bamusuubiramu.

 

EKIRINA OKUKOLEBWA

Patrick Ssengendo ow’e Kagoma yagambye nti bino byonna bisinze kuva kuba nti

abantu abakulu abatakyakola nga byakulabirako kubanga batunuulira byanfuna.

Omuzadde omusajja olw’okuba ayagala okweggweera ebintu yekka tasobola kuwabula

muwala kusooka kuyita wa ssenga kuba akimanyi nti kijja kuvaako okugabana ebintu.

 

Ssengendo yagambye nti abavubuka balina okusomesebwa n’okuddayo ku nnono obufumbo ze bwatandikirwangako n’emigaso egyabeerangawo mu kugoberera emitendera

emituufu. Ate n’abavubuka balina okwewala amalala n’okweraga kuba bye bisinze okubaviirako okukola ensobi zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera