TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo mu bufumbo n’engeri y’okubivvuunuka

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo mu bufumbo n’engeri y’okubivvuunuka

By Musasi wa Bukedde

Added 25th September 2018

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu.

Lovelies 703x422

Bano baabadde mu kifo ekisanyukirwamu mu Kampala gye buvuddeko nga beewaamu.

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu.

Ababulimu abamu babuwanda lulusu olw’okusoomoozebwa kwe babusanzeemu, ate ababunoonya beesunga ddi lwe babuyingira, olw’essanyu lye basuubira okubusangamu. Obwo bwe bufumbo.

Abakkiririza mu Kristo bakimanyi nti obufumbo bukulu, era bwawandiikibwa ne mu Bayibuli mu ndagaano empya n’enkadde.

Era y’ensonga lwaki wadde oluusi bubaamu ebirumira, obufumbo tebusuubirwa kuggwaawo. Ate era n’okusoomoozebwa okubulimu tekusuubirwa kuggwaawo.

Kino kitegeeza ki? Kitegeeza nti ggwe abulimu n’asuubira okubufuna oteekeddwa okwesiba n’onywera okusobola okubutambuza.

Oluusi ekiremesa abantu okuwangaalira mu bufumbo bwe butamanya kiki ekisuubirwa ku buli mutendera gw’obufumbo.

Rebecca Masagazi 40, ow’e Lungujja Kitunzi agamba nti wadde omusajja gw’abeera naye si wa mpeta, naye amulinamu abaana babiri.

Agamba nti; “Ebbanga lye maze ne baze nfunye okusoomoozebwa okw’enjawulo nga nkufunira mu mitendera, kyokka ne ηηuma okutuusa bwe yafuuka omuntu abeereka naye.

Bwe yanteeka mu maka ge, twatadika okubeera ffenna mu mukwano omusuffu era oluvannyuma lw’emyaka ebiri, nafuna olubuto lw’omwana waffe asooka.

Wano munnange we yasalirawo okuggyayo emize gye gyonna, omwali okuyomba, obutampuliriza, wabula olw’okuba nali mmwagala nasalawo mbigumire.

Ekyo bwe kyaggwa ate n’agattako okukola ebbuba nga buli gw’andaba naye amunjagaza.

Olumu ng’azira n’emmeere, n’annangira nga bwe mpeeruuse, ng’awaka takyayagala kubeerawo amaka n’agandekera naye nga nkanya kuguma n’okusaba n’obutalaalaasa bitukwatako.

Kyokka ng’obugumiikiriza bwe butuusa ku lyengedde, omwami yagenda adda yekka mu mbeera ze ηηenda okulaba eby’oku -yomba abivuddeko, azzeemu okunnyingiza mu pulaani ze anneebuuzaako, bwe tutyo nga tuddawo mpolampola n’okutuusa kati omwami n’atereera. Kati emyaka giweze 15 wabula ssinga saaguma nandinobedde ku etaano.

Micheal Dumba Ssaabafumbo w’essaza lye Kampala, ne Marion Nakagiri Sekiziyivu omuwandiisi w’ekitongole ekitwala ensonga z’a bafumbo bagamba nti abafumbo bwe bamaliriza okukuba ebirayiro mu bufumbo balowooza nti buwedde, so nga baba boolekedde okuyita mu mitendera gy’obufumbo egibaamu ebiwonvu n’ebikko.

Buli mutendera gubaamu okusoomoozebwa era abamu bakoma ku gusooka.

 

OMUTENDERA OGUSOOKA

Guno gubaawo okuva abaagalana we basalirawo okubeera bonna nga guyinza okumala emyaka ebiri. Wano we wabeera omukwano ogw’ekimmemmette.

 

Essanyu liba lingi olw’ebingi ebisanyusa ebikolebwamu ng’okweyita amannya agawaana, okutambula wamu, okutona ebirabo ne kalonda omulala.

Kyokka wadde gulimu essanyu, abafumbo waliwo ebintu bye balina okusuubira okubasoomooza ku mutendera guno, omuli:

 Omusajja suubira ensaasaanya okweyongera kuba kati ababadde bakuyambako mu bintu ebimu omuwala gy’abadde abeera avuddeyo ggwe omuvunaanyizibwako.

Musuubire abantu abakyabatawaanya ku njuyi zombi. Okugeza wabaawo ababa bakyakuba amasimu be mwalekawo (ba ‘EX) ababeera batannakkiriza.

Olina okutandika okukola emirimu egimu gy’obadde tokola. Okugeza, omuwala bw’oba obadde ojja ewa muganzi wo ng’osanga engoye ze ddobbi yazoozezza, manya nti ogenda kutandika okuzooza ate bwe muba emmere mubadde mulya ngule, manya nti okufumba kuyingiddewo.

Ku mutendera guno era w’olabira obuze munno bwe yakukweka, omuli okuyomba, obunafu, obucaafu n’obulala. Ku mutendera guno abamu we bakoma olw’obuze buno nga balaba tebajja kubusobola. Wabula era abagusukka bangi ne bagenda mu gw’okubiri.

OMUTENDERA OGW’OKUBIRI

Guno gwe mutendera ogw’okukula okuva mu bantu ababiri, era wano erinnya ly’amaka we litandikira okuvaayo. Mufuna abantu ababeegattako gamba ng’abaana be muzaala, abeηηanda, abakozi n’abalala. Guno guba mutendera gwa kutuukiriza bye mubadde mwesuubiza.

Mu mutendera guno, omukwano gw’ekimmemmette gutandika okusalika, essanyu ne likendeera olw’okusoomoozebwa okutera okubaawo omuli;

Omuwendo gw’abantu be mubeera nabo gweyongera. Okugeza abaana abazaaliddwa n’eηηanda babeegattako, ekitegeeza nti n’ensaasaanya yeeyongera.

 Abawi b’amagezi bajja mu mukwano gwammwe. Olumu abafumbo bwe bataba na ddiini, okweraguza kutandika, omusajja bamuwa amagezi oluusi agaba amakyamu, ate nga n’omukazi waliwo abamuwa amagezi agatali malungi.

Ku mutendera guno buli omu alwana okuba omutuufu.

Endabika ya munno gy’oli ekyuka, okugeza omusajja atandika okulaba omukyala ng’atamusaana olw’ebbeere eriba liyonkebwa omwana nga litandise okugwa era n’obwenzi emirundi egimu wano we buyingirira mu maka naddala ku ludda lw’abasajja.

Ekikolwa ky’okwerowoozako kitandika mu bufumbo, buli omu alaba alina okubaako ky’akola yekka.

Omukyala atandika okufuna endowooza y’okuzimba akayumba ke kuba alaba obufumbo buyuuga n’omwami atandika okwagala okugula ebibye.

 butakkaanya oluusi bulemesa obufumbo okutojjera Obutakkaanya oluusi bulemesa obufumbo okutojjera.

 

OMUTENDERA OGWOKUSATU

Guno guba mutendera gwa kwenaazaako nnaku gye muyiseemu mu mutendera ogw’okubiri n’ogusooka era ebimu ku biyamba okuzza essanyu ebibeerawo mu mutendera guno bye bino wammanga.

Abaana be muzadde bakula ne bafuuka olujegere olubagatta n’obwetaavu bw’okubeera ewamu nabo.

Okuteesa kutandika okukomawo, buli omu n’amanya obuvunaanyizibwa bwe, olwo ne mutandika okuteeka ebigendererwa byammwe mu bikolwa.

 Mu mutendera guno mubamu ebintu eby’enjawulo ebikolebwa ng’okukuza ennaku ez’enjawulo okugeza Valentayini, amazaalibwa gammwe, wamu n’okweyungibwako emikwano emituufu era egyammwe mwembi.

Okusoomoozebwa okutera okubaawo mu mutendera guno mulimu;

Abaana abaazaalibwa ebbali wano we batera okujjira mu maka. Abaana bano batera kufunibwa mu mutendera ogwokubiri, omusajja w’alabira omukazi ng’atakyamusaana ne yeeyiiyaako ebbali gy’azaalira abaana.

Watera okubaawo enkyukakyuka mu byenfuna, okugeza omu ku bafumbo nga takyakola, akola n’atandika okumuyisaamu amaaso.

Obusobozi mu nkola y’ebintu bukyuka. Okugeza wano endwadde nga sukaali ne puleesa zizuuka ku munno oba mwembi era mwesanga ng’ensonga z’obuliri muyinza okuba nga temukyazeeyunira nnyo.

OMUTENDERA OGW’OKUNA

Guno gutwalibwa nti gwe mutendera ogusembayo oba guyite omutendera gw’okukulana. Guno gwogerwako ng’omutendera gw’ebirungi oba amakungula.

Mu mutendera guno abafumbo we baddirayo mu mukwano ogwasooka era nga buli omu ayagala okuba munne waali. Bwe muba mwazaala abaana, guba mutendera gwa kulabirirwa.

Okusoomooza okubaamu tekutera kuba kungi mu bafumbo mpozzi okufuna entondo n’oluusi okulwalalwala olw’omubiri okunafuwa.

ENGERI GYE MUYITA MU KUSOOMOOZEBWA

Marion Nakagiri agamba nti olw’okuba omuntu muba mwasalawo okubeera mwenna mu bulungi ne mu bubi, bwe wabaawo okuyuuga mu bufumbo mulina kulwana okusigala awamu nga muteekawo obugumiikiriza era buli omu n’alwana okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe n’okugolola ensobi nga muli wamu kuba obufumbo kitegeeza kubeera bumu mu byonna bye mukola.

Nakagiri era agamba nti buli bufumbo nga tebunnatandika wabaawo abakulu ababeera balambika abafumbo okugeza bwe buba bwa ddiini, abafumbo balina okujjukira ebyo bye baalagaana n’ebyababuulirirwa ne babyekwatako okuyita mu muyaga gwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina