TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Laavu gye tulina etuyisa balongo’

‘Laavu gye tulina etuyisa balongo’

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2018

EYALABIKIRA mu banoonya ku Bukedde Ttivvi essanyu lyalina lya mwooki wa ggonja olw’okufuna omukazi.

Balongo 703x422

Kamoga ne Nambalirwa nga bali mu mukwano

EYALABIKIRA mu banoonya ku Bukedde Ttivvi essanyu lyalina lya mwooki wa ggonja olw’okufuna omukazi.
 
Eddie Kamoga 25, omutuuze w’e Buloba ng’akolera ku kkampuni emu etwala abantu
mu mawanga g’ebweru agamba nti okufuna omukazi lubadde lutabaalo kuba kubaddemu okusoomoozebwa kungi.
 
“ Nagezaako okufuna omubeezi okusooka ne bigaana anti ng’abasinga bayaaye era
nga baagala kundyako ssente zange bagende. Embeera eno ye yampaliriza okwegatta ku banoonya nsobole okufuna omukyala omwesimbu nga mwetegefu okukola obufumbo kuba obulamu bw’omu nnali mbukooye.
 
Nneetaba mu banoonya mu June wa 2016, era olunaku lwe nalabikira mu banoonya
kyampitirirako kuba nafuna essimu ezitamanyiddwa muwendo okuva mu bitundu
ebitali bimu nga bonna baagala kuneewangulira.
 
Nasisinkanako abakazi abasoba mu 50 naye ng’abasinga badigize bano abanyumirwa
eby’amasanyu nga bagasseeko okwagala ssente.
 
Mu bangi abo, mwe nnalonda Margaret Nambalirwa kuba yali ayogera bulungi ate nga mukkakkamu mu mbeera ze.
 
Olwamulabako, namusiimirawo kuba yandabikira bulungi era nga mukyala asobola okumpeesa ekitiibwa mu bantu.
 
Bwe twayawukana naye kyatutwalira emyezi ena okuddamu okulabagana kuba nalina emirimu nga nnina n’okutambulako. Kino kyandaga nti yali mugumiikiriza kuba yanninda okutuusa bwe nakomawo ne kyongera okuηηumya nti ky’aliko akitegeeza.
 
Bwe twaddamu okusisinkana, buli omu yateerawo munne obukwakkulizo bw’alina okutuukiriza. Yansaba okweyanjula mu bazadde be, okumufunira eky’okukola n’ebirala
ebintu bye nakkiriza okutuukiriza.
 
Bino byonna okubaawo nga tumaze okwekebeza omusaayi era nga tewali kiyinza kutulemesa kugenda mu maaso kuba ebyava mu musaayi mu ddwaaliro lya Elmose e Wandegeya gye baatukeberera byali birungi.
 
Nga wayise emyezi ebiri, twasalawo okubeera ffenna mu bufumbo nga bwe tutegeka okugenda mu bazadde. Kati tutegeka kukyala wa ssenga e Masaka nga December
25, asobole okutambuza ensonga zaffe ezinaatutuusa mu bazadde.
 
Ekitukuumye ng’omukwano gwaffe mupya lwakuba tuguteekamu ebirungo buli olukya era abatulaba ne batwegomba kuba tulinga balongo anti n’engoye twambala zifaanagana.” Bwatyo Kamoga bwe yategeezezza.
 
Ate Margaret Nambalirwa, 28, omutunzi w’engoye ng’akolera ku HAM e Nakivubo,
yeebazizza Bukedde okumufunira omwami kuba singa teyali yo tekyandibadde
kyangu kufuna mwami kuba yali tamumanyi.
 
Yamusuubizza okumulaga omukwano omujjuvu omuli n’okumuzaalira abalongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...