TOP

Okuwangaalira mu kisaawe

By Scovia Babirye

Added 10th October 2018

Okunyumya akaboozi n'owangaalira mu kisaawe oluusi kirema lwa butaba na bukodyo n'obutamanya kya kukola.

Kuwangaala22a 703x422

David Kisekka w'e Kasubi

Bya SCOVIA BABIRYE

ENGERI GY’OYINZA OKUWANGAALIRA MU KABOOZI

BW’OBA oyagala okuzannya akazannyo osigale nga teweenuguuna wadde okuwankawanka, fuba okulaba ng’okola buli ekisoboka olabe ng’owangaalira mu kaboozi.

Okuwangaalira mu kaboozi olina buli kimu okukikwata mu mitendera egy’enjawulo ate nga topapa. Tandika ng’oteeka munno mu muudu nga topapa ate nga tomulumya era naawe ng’otaddeyo ebirowoozo.

Obudde ne bwe butuuka okudda ku bunnaabwo, fuba okusigala ku mulamwa. Ekisinga okuleeta obuzibu kwe kuwulira nga munno akaaba, asinda nga kw’agasse okusikondoka olwo naawe n’ogendera kwebyo by’akola. Kino bw’okikola ekivaamu kuba kumalamu kagoba.  Naye bw’osigala ng’ebirowoozo obitadde ku kya kuwangaalira mu kisaawe era ojja kusigala ng’okyagenda mu maaso.

Bw’owulira ng’onootera okutuuka ku ntikko ate nga munno tannaba,kirungi okendeeze ku sipiidi kw’obadde otambulira.

 

Abantu bye bagamba

David Kisekka w’e Kasubi; Nze bwe mba njagala okuwangaalira mu kazannyo ,omukyala wange nsooka ne mutegeka bulungi nga sipapa ate n'amaddu gange ngakendeeza ne twenoonya nga bwe tunuuna ne ku swiiti ,bwe mbeera nnyingidde ne mpulira ng'amazzi gajja ate nga nkyanyumirwa  nga mpisa omukono emabega nga neesuna ku nsigo ng'amazzi gaddayo olwo nga neeyongera mu maaso.

 

 ustine amwambire e ireka Justine Kamwambire e Kireka

 

Justine Kamwambire e Kireka ;Abantu bwe babeera beeyagala nnyo naddala nga baakeefuna te bawangaalira nnyo mu kaboozi kubanga babeera beerinamu amaddu naye abawangadde okumala ebbaga bamala mangu kuba babeera beemanyiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina