TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe namukyawa n’ampendulira mikwano gye bansobyeko

Bwe namukyawa n’ampendulira mikwano gye bansobyeko

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2018

OMUSAJJA gwe nasookerako yandaga obuyaaye n’atuuka n’okumpendulira mikwano gye bansobyeko. Nze Daphine Namboga 19, mbeera Maganjo.

Yoyo 703x422

Twasisinkana naye mu kimu ku bifo ebisanyukirwamu e Katooke mu Ggombolola y’e Nabweru mu Wakiso ne tusiimagana.

Yandaga gye yali akolera. Yali atunda mu dduuka e Kawanda era nga gy’abeera ate nze nga mbeera ne mikwano gyange.

Yantwalanga mu bifo ebisanyukirwamu ne tunyumirwa obulamu nga n’olumu amanyi okuntonera ebirabo wamma ne ndabira ddala nti nafuna omutuufu.

Okutwaliza awamu yali tanjuza naddala mu by’omukwano.

Ewuwe n'agendangayo okumubeesabeesa n’okumuyambako ku mirimu ng’okumwolezaako engoye, okugolola n’ebirala. Lumu nagenda ewuwe nga sisoose kumukubira ssimu ne nsangayo omukazi.

Omusajja yali taliiwo wabula olwali okuyingira ennyumba, omukazi yatandikirawo okunvuma n’okumbuuza kye nnali njagaza bba.

Waayitawo ekiseera kitono n’omusajja n’akomawo awaka n’atandika okwekazakaza nga bwe yali akyazizza mwannyina ggwe yali tandagangako.

Eky’okukolera omusajja kyambula ne ntambula ne mmuviira. Kyatutwalira omwezi mulamba nga tetuwuliziganya kuba nali nsazeewo okumwesonyiwa.

Yaddamu n’ankubira essimu nga yeetonda ku ngeri gye yali yeeyisizzaamu. Omulundi ogwaddako okusisinkana era n’amukyalira mu maka ge nga bwe nateranga okukola.

Kw’olwo twamala naye akaseera katono n’antegeeza nga bwe yali alina w’agendako n’ansaba mugumiikirizeeko.

Nga wayise ekiseera kitono, egimu ku mikwano gy’omusajja gyakonkona ne ngiyingiza mu nnyumba.

Olwali okuyingira gyatandikirawo okunkolako effujjo nga bankwatirira nga baagala kunkozesa ku kifuba.

Nakuba enduulu ab’emiriraano be banziruukirira ne bantaasa ku bavubuka.

Omusajja olwali okulabikako n’anneewaanirako ekyandaga nti yali mu lukwe. Wano we namwesonyiyira era ne nsigalira kukola mirimu gyange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...