TOP

Njagala bukodyo obunyweza omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

NSABA kumpa ku bukodyo obunyweza omukwano. Nze James e Kayunga.

Ssenga1 703x422

OKUSOOKERA ddala olina okumanya nti omukwano okunywera, omwami n’omukyala mulina okwewaayo okunyweza omukwano guno.

Omusajja ssinga ofaayo naye nga munno si byaliko era omukwano tegusobola kunywera.

Ennaku zino weesanga nti omu ku bafumbo afuba okulaba ng’omukwano gunywera naye ng’omulala si by’aliko. Embeera eno weeri kubanga abantu bangi bayingira obufumbo nga si bamalirivu era bakikola kutuusa mukolo.

Kati bw’atuuka mu bufumbo n’amenya munne. Okunyweza mukwano walina okubaawo mukwano wakati wammwe era nga mwagalana kubanga mu mukwano buli omu yeeguya munne.

Mulina okubeera n’obwesigwa, obugumiikiriza, obusaasizi, okwagaliza, n’ebirala.

Buli omu alina okufaayo ku munne era gwe omusajja okukola obuvunaanyizibwa ng’omusajja, kiyamba munno naye okukola obunaanyizibwa bwe.

Ekirala bw’oyingira omukwano tolowooza nti olina okukyusa munno era olina okumanya nti munno alina ebirungi naawe olina ebirungi ate n’ebibi. Teri atuukiridde era mulina okuyiga okusonyiwagana.

Bingi ebikuuma omukwano ne gunywera era sisobola kubimenya byonna wano mu mawulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu