TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwana bwe yazimba omutwe baze n’adduka

Omwana bwe yazimba omutwe baze n’adduka

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

NZE Caroline Lagoze, 35 nga mbeera Kadama mu disitulikiti y’e Kibuku. Mpulira obulamu buggwaawo olw’omusajja okundekera abaana ate ng’ategedde nti omu mulwadde yeetaaga obujjanjabi obw’amaanyi.

Taba 703x422

Lugoze ne bbebi we

Twalinga mu ssanyu mu bufumbo nga buli omu atwegombesa naye omwana waffe omu bwe yazimba omutwe saamanya nti y’entandikwa y’okubonaabona kwaffe.

Omusajja yatandika okwecanga nga ne bwe mba nnina kye mmusabye antegeeza nga bw’atalina ssente oluusi n’amboggolera nga bwannangira obutakola.

Kino nnasooka ne nkigumira naye ate ηηenda okulaba nga n’omwana we eyalwala omutwe takyayagala kumusitula ekyantiisa ne neebuuza lwaki yali yeeyisa atyo.

Mu November wa 2017, yava awaka ng’antegeezezza nti agenda kukola naye nga tambuulidde w’alaze.

Ekyannyongera okutya kwe kuddamu okumukubira ku ssimu ze nga teziriiko n’okutuusa kati.

Ekisinga okunnerariikiriza kwe kuba nti omusajja simulaba ate ng’omwana buli lukya yeeyongera okutabuka ng’asula akaaba olw’omutwe okuzimba buli kaseera.

Nagezaako okumutwalako mu ddwaaliro ekkulu e Mbale era abasawo we baantegereza nti yeetaaga kulongoosebwa nga kyetaagisa 8,000,000/- ze sirina.

Ennyumba gye yali yatuzimbira ey’ettaka yagwaako ekitundu era tusula mu kifulukwa nga tetulina na ssente ziyinza kuddamu kuzimba byamenyeka.

Nsaba oyo yenna ayinza okunnyamba antaase ku buyambi kuba abaana bana be nnina sirina kye mbaliisa ate nga n’ono omulwadde asula akaaba olw’okulumizibwa kw’alina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...