TOP

Eyanzaalamu akinkoze...

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

NZE Leeya Negesa 35, nga mu kiseera kino mbeera Kisubi mu Kato Zooni. Twalabagana ne taata w’abaana mu 2010 era Mukama n’atuwa ezadde ly’abaana mukaaga kyokka nga bonna okubazaala omusajja yajjanga nga bwe nfuna olubuto ng’adduka.

Kola 703x422

Omusajja nali ηηenze kugula binywebwa ku dduuka ne musanga n’aηηamba nti anjagadde.

Mu kiseera ekyo nalina emyaka 20 naηηamba nti aludde ng’andaba era ng’anjagala nange kwe kumukkiriza kubanga nali nkuze ate nga sisoma.

Nakkiriza ne tukola amaka ne nfuna olubuto olwasooka ne nzaala bulungi. Waayitawo akaseera ne nzaala omwana omulala kyokka awo taata w’abaana omulimu ne gugootaana.

Nnali ntunda cakalacakala ku kkubo okutuusa mu 2016 embeera bwe yatabukira ddala nga ndwadde.

Nali lubuto lwakusatu ne ηηenda mu ddwaaliro okufuna eddagala ne bankebera nga nalwala akafuba. Olwokuba nali sikyalina buyambi naddala ekyokulya, eddagala lye bampa nalimirira emyezi ebiri ne ndivaako nga limpisa bubi.

Omwana wange omu naye akafuba kaamukwata kubanga we namuzaalira nga ndi mulwadde naye nga sikimanyi.

Kino kyayongera obulamu okukaluba kuba omusajja yali yadduka dda. Twatandika okugenda nga nsula buli wantu, abazirakisa bansuzaako mu buli kye basobola n’abamu okunsuza okumala akaseera era bwentyo bwendi n’abaana bange.

Taata w’abaana musajja nzaalwa y’e Congo, sirina muntu we yenna gwe mmanyi kuba yali yansuubiza okuntwala ewaabwe nga tumaze okuzaala naye kati simanyi waakutandikira.

Nzaalibwa Bulambuli naye ntya okuddayo kubanga embeera si nnungi, enkuba bw’etonnya ng’ettaka libumbulukuka kyentya nti liyinza okunzita n’abaana bange.

Ndi mwetegefu okukola ne nneebeezaawo n’abaana bange ssinga mba nfunye omulimu.

Omwana omu (ow’emyaka 4) yalwala, olubuto lwazimba ne mutwala e Mulago mu mwana mugimu ne bamuggyamu amazzi.

Abalongo abato ba myezi mukaaga kyokka amabeere baagazira kubanga mwali temuli kye bayonka kati ngabirira bagabirire. Embeera mbi ddala.

Neetaaga obuyambi era yenna aba asobodde ndi ku ssimu nnamba; 0757533362.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa