TOP

Eyandekawo ayagala mmupangisize

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

Yalaba ssente zikendedde ne yeegoba nti tasobola bwavu, era gye yagenda n’azaalayo n’omwana.

Newsengalogob 703x422

NZE Asirafu Walukaga, nnina omukyala gwe nazaalamu abaana babiri ne twawukana wabula saamugoba.
 
Yalaba ssente zikendedde ne yeegoba nti tasobola bwavu, era gye yagenda n’azaalayo n’omwana. Kati ayagala mupangisize kyokka nga nnina omuntu wange. Nkole ntya?
 
Ono omukyala okyamwagala oba omwagala nga maama w’abaana bo. Oba yanoba yekka era ng’ekyamunobya bwavu kati ssinga oddamu n’oyavuwala era agenda kuddamu anobe.
 
Bw’oba okyamwagala oli waddembe okumupangisiza ennyumba akulizeemu
abaana bammwe. Era osobola n’okukikola wadde tokyamwagala naye ng’omufunidde ekifo w’akuliza abaana.
 
Naye bino byonna obikola ng’olina obusobozi, so si kukuteeka ku pisito. Naye oba tomwagala ate nga tolina busobozi osobola okumuggyako abaana mu mirembe nga naye akkiriza n’obeera nabo oba n’obatwala ew’omuntu nga maama wo oba mwannyoko asobola okubalabirira.
 
Oba obamulekera naye ng’omuuwa obuyambi ng’alina w’atudde. Okumulabirira si buvunaanyizibwa bwo naye okulabirira baana buvunaanyizibwa bwo.
 
Ekirala ogambye nti olina omuntu wo, ono olina okumubuulira nti olinayo abaana osobole okuwa abaana bo obuyambi mu bwerufu. Ate era mugambe nti maama w’abaana wamukyawa afumbe nga talina kimutawaanya.
 
Okusalawo kukwo okusinziira ku mukwano gw’olina n’omukyala ono. Naye oba ssente zaamugoba era tajja kufumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte