TOP

Waliyo eddagala eritta obusajja?

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

OMUKAZI bw’aba yanzita obusajja nsobola okufuna eddagala?

Newsengalogob 703x422

OMUKAZI bw’aba yanzita obusajja nsobola okufuna eddagala? Ye eriyo eddagala eriziyiza omukyala obwenzi? Naasanyuka ng’onzizeemu.
Nze Mbayiwa Miller.
 
Mwana wange ekisookera ddala abakyala b’edda sigaanyi baayendanga naye nga kiba
kyama kya maanyi, era nga batuuka n’okuzaala omwami n’akuuma ekyama ekyo nga
tayagala maka ge kuswala.
 
Naye ennaku zino, kyannaku nnyo nti abakyala era n’abaami bakola obwenzi nga
tebafudde ku maka gaabwe era n’okuswala.
 
Nga tonnanoonya ddagala lya bwenzi olina okusooka okwebuuza lwaki mukyala wange ayenda oba kiki ekisobola okumuleetera okwenda. Kubanga ennaku zino emikisa gy’omukyala okwenda mingi kubanga abasinga abalowooza nti tekirina buzibu era
kifuuse kya bulijjo.
 
Okusookera ddala ng’olonda omukyala twala obudde ng’onoonya era nga weetegereza. Ennaku zino abakyala bangi bayingira obufumbo naye nga ddala si bafumbi.
 
Okwetegereza kuyamba okumanya oba ddala otwala omukyala nga mufumbi oba otwala musuubuzi. Anti ennaku zino n’obufumbo abamu babutwala nga bulinga obusuubuzi.
 
Ekirala ennaku zino abakyala abamu batunuulira nnyo ebyenfuna era baagala nnyo ssente. Kati bw’otwala omukyala bwati mu bufumbo manya nti omukisa gw’okwenda munene kubanga ayagala ssente era bwe zibula ewuwo era alina okuzinoonya.
 
Ekirala, n’abasajja oluusi tebatuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe era omukyala
omwezi bw’alabawo ggaapu alina kwenda afune ky’ayagala.
 
Mpozzi n’ekirala abakyala ennaku zino bakimanyi nti omusajja alina okumatiza
omukyala. Kati mu kisenge ebintu nga tebigenda bulungi weesanga ng’omukyala anoonya w’asobola okufuna omuntu amumatiza.
 
N’ebirala bingi ebiretera omukyala okwenda. Naye omukyala nga mufumbi ng’alina obugumiikiriza tasobola kwenda kubanga akimanyi nti kiweebuula amakage era
n’omwami we era nebazadde be.
 
Obwenzi si bulungi mu maka. Nze sirina ddagala liziyiza mukyala kwenda wabula nkuwa amagezi nti olina okwetegereza omukyala gw’owasa kubanga abamu si bafumbi era obwenzi tebakiraba nga kizibu mu maka. Noolwekyo weegendereze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...