TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebyayambanga bajjajjaffe okutta eddya aba luno bye banyooma

Ebyayambanga bajjajjaffe okutta eddya aba luno bye banyooma

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

“OBULUNGI si ddya.., lugero lwa bajjajjaffe olwakubirizanga abawala obuteeyibaala ne bwe baabanga balungi lwondo nti ebiwangula obufumbo biba birala nnyo.

Bufumbo1 703x422

Emmanuel Duta Mubiru ne mukyala we mu biseera byabwe eby’eddembe.

“OBULUNGI si ddya.., lugero lwa bajjajjaffe olwakubirizanga abawala obuteeyibaala
ne bwe baabanga balungi lwondo nti ebiwangula obufumbo biba birala nnyo.
 
Waliwo ebintu ebiwerako ebyakolwanga naddala abakyala b’edda ebyabayambanga okuwangaalira mu bufumbo, sso ng’ensangi zino ababulimu tebabitwala nga nsonga.
 
Eno yandiba nga y’ensonga lwaki obufumbo bw’ennaku zino bungi tebuwangaala, so
ng’abagezezzaako era babeera mu kunyigirizibwa.
 
Emmanuel Duta Mubiru, 80 ow’e Busega amaze ne mukyala we emyaka egisoba mu 50 nga baagalana era tebaawukanangako.
 
Ono agamba nti abakyala b’edda baakolanga ebintu bingi ebyabakuumiranga
mu bufumbo bwabwe ne biremya n’abasajja okulabankana.
 
Ebimu bye baakolanga mulimu;
 
1 Edda omukyala bwe yabanga tannayiisa kyamisana ng’omwami we amuyiiyiza n’amwokerayo kasooli, gonja oba okumuwa ebinyebwa eby’empogola. Baabuulirirwanga nti omusajja talina kulumwa njala, era awaka nga tewayinza butabaawo kyakulya. Wabula ab’ennaku zino, omusajja okumubuuza oba waliwo ekyokulya, addamu kimu nti, ‘oli mwana muto atasobola kugumiikiriza..,
oba nze olaba nnalidde dda?’ Bino bireetera omusajja okwetamwa awaka n’asalawo okukomawo ng’alidde akkuse.
 
2 Mu nsonga z’ekisenge, omukazi yatendekebwanga kusanyusa bba, era amaanyi gonna yagateekanga awo. Kyabanga kivve omukazi okugamba bba nga bw’atamalaako kubanga yamanyanga nti buvunaanyizibwa bwe okulaba nga bba asanyuka, si
nsonga ye ne bwe yabanga tanyumiddwa. Wabula ennaku zino, omukazi asinga kufaayo kunyumirwa era y’ensonga lwaki abamu bwe batuuka mu kisenge ensonyi
bazisiba ku mpagi ne batandika okusomesa abasajja engeri gye bayesaamu empiki.
Omusajja ayissiddwa mu ngeri eno bw’ataba musajja nnyo ayinza okutandika okweraba ng’atamanyi by’akola olwo omukwano eri omukazi oyo ne gutandika okusereba.
 
3 Omusajja yaweebwanga ekitiibwa, baamubudaabudanga, okumuddaabiriza n’okumuyisa nga ssenkulu awaka. Bino abakazi batono abakyabifaako, kuba bakitwala
nti beenkanankana n’abasajja noolwekyo tebateekwa kubatiitiibya era ekitiibwa akoma kukibawa ku mikolo.
 
4 Baalaganga basajja baabwe omukwano mu bujjuvu omutaali malala, bukuusa, mu bigambo ne mu bikolwa. Nga bayingide ekisenge kyabwe, obusungu ne kalonda yenna baamuvangako ne bassa omwoyo ku kintu kimu ekibeezaawo omukwano. Bwe baabanga babadde n’obutategeeragana, baabumaliranga wansi ku kakeeka ssenga ke yasibirira omugole. Kano kaateekebwanga wansi w’ekitanda naye ab’ennaku zino ayinza okuyomba n’abemiriraano ne bazuukuka, ate oluyombo lwa kati lusobola
n’okutwala ennaku eziwera ng’omuntu akyakuumye obusungu ku mutima. Batuuka n’okwawula obuliri oluusi ne kiretera n’omwami okuva awaka n’atandika kwesulira
eyo mu mikwano gye anti ng’awaka tewakyali mirembe.
 
5 Bwabanga buvunaanyizibwa bwa mukyala okuyonja omwami we, okumwoleza, okumwalira obuliri, okumusala enjala, okumubugumiza ku mazzi g’okunaaba
n’okugateekayo. Bino byakuumanga ababiri bano nga tewali akiikira munne nsingo. Naye ab’ennaku zino obwo obudde tebakyabulina era ensonga zonna bazirekera
mukozi w’awaka y’amanya ddadi by’anaayambala ne kalonda yenna.
 
6 Edda omukyala ne bwe yabanga n’ebyobugagga oba ng’ava mu famire engagga, so nga bba si mugagga, yabanga mukkakkamu era nga teyeewanika ku musajja.
Wabula ab’ennaku zino, omukazi bw’amanya nti alinawo kiba kizibu okuwuliriza omusajja by’amugamba, era bw’asanga omusajja ateeguya, kyangu obufumbo obutawangaala.
 
7 Abakyala b’edda tebaayanukulanga baami baabwe. Era omukazi bwe yabanga afumbirwa nga bamulagira okubatika amazzi mu matama bw’alaba nga bba ayomba. Kino kyamutangiranga okumuddamu, kubanga kyabanga kivve okuva mu musajja. Kino kyabayambanga okukuuma obufumbo bwabwe nga temuli nnyombo. Wabula bino tebikyakola ku mulembe guno. Abakazi bannalukalala batuuka n’okulangira abasajja
baabwe mu lujjudde, abamu ne batuuka ne ku ssa ly’okubakuba.
 
8 Abakyala edda baabanga n’emmizi era ng’anaabaako ky’ayogera asooka kwefumiitiriza. Ne bwe lwabanga lugambo nga tamala gakkiriza buli kimu,
naye ab’ennaku zino bagenda ne buli kye bawulidde n’ensonga z’obufumbo bwabwe baziteeka mu lujjudde, olwo buli omu n’amuwa amagezi omuli n’ago agamuwabya.
 
Ssenga Hamidah Namatovu, abuulirira abafumbo n’abaagalana agamba nti mukugu mu nsonga z’amaka agamba nti ebizibu bingi ebitawaanya abaagalana ensangi
zino ate nga tebiriimu nsa era abakyala b’edda baabibuusanga amaaso ne kibayamba okufumba.
 
Ebintu abaagalana bye basobola okukola ensangi zino ne bikuuma omukwano ne gufaananako ogw’edda mulimu, okwegabira ebirabo n’okusiima munno.
 
Munno mukolereyo ekyenjawulo ng’okumukuliza amazaalibwa ge era baako ky’omutonera ku lunaku olwo. Kino ne bw’omukolera nga kitono kimusigala ku mutima era amanya nti by’omukolera asiima.
 
Abaami baagala nnyo okulya emmere ewooma, fuba okulaba nti omwami wo omufumbira akamere akasinga okumuwoomera ate faayo okulaba nti okawa
obudde ate n’okuyiiya.
 
Omwami buli lw’anaalya emmere yo n’awoomerwa, omukwano gwo gy’oli tegujja kukendeera era ajja kwanguwanga okudda awaka ng’akwesunga.
 
Abakyala balina okusooka okweggyamu okutunuulira n’okwesigama ennyo ku ssente
kubanga omukwano tegutambulira ku ssente zokka.
 
Munno bw’aba tasobodde kukutuusaako byetaago byo mu budde mugumiikirizeemu ate fuba okulaba nti omuzzaamu amaanyi.
Kino kizzaamu abasajja endasi.
Emmanuel Duta Mubiru ne mukyala
we mu biseera byabwe eby’eddembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai